Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Numri i faqes:close

external-link copy
238 : 2

حَٰفِظُواْ عَلَى ٱلصَّلَوَٰتِ وَٱلصَّلَوٰةِ ٱلۡوُسۡطَىٰ وَقُومُواْ لِلَّهِ قَٰنِتِينَ

238. Munyiikirire nnyo e sswala zonna ettaano, naddala e sswala y'omumakkati; muyimirire mu maaso ga Katonda nga muli bakkakkamu. info
التفاسير:

external-link copy
239 : 2

فَإِنۡ خِفۡتُمۡ فَرِجَالًا أَوۡ رُكۡبَانٗاۖ فَإِذَآ أَمِنتُمۡ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَمَا عَلَّمَكُم مَّا لَمۡ تَكُونُواْ تَعۡلَمُونَ

239. Wabula bwe muba nga mutidde (omulabe) musaale nga mutambula oba nga mwebagadde. Wabula bwekuba nga okutya kuvuddewo mutendereze Katonda (nga musaala) nga bweyabayigiriza ebyo byemwali temumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
240 : 2

وَٱلَّذِينَ يُتَوَفَّوۡنَ مِنكُمۡ وَيَذَرُونَ أَزۡوَٰجٗا وَصِيَّةٗ لِّأَزۡوَٰجِهِم مَّتَٰعًا إِلَى ٱلۡحَوۡلِ غَيۡرَ إِخۡرَاجٖۚ فَإِنۡ خَرَجۡنَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِي مَا فَعَلۡنَ فِيٓ أَنفُسِهِنَّ مِن مَّعۡرُوفٖۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٞ

240. Abo abatuukwako okufa mu mmwe nebaba nga balese abakyala, Katonda alagira nti abakyala abo bateekwa okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temukyalina buvunaanyizibwa kw'ekyo kyebaba bakoze mu kwekolako nga beenyiriza. Bulijjo Katonda wa maanyi, ate nga agoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
241 : 2

وَلِلۡمُطَلَّقَٰتِ مَتَٰعُۢ بِٱلۡمَعۡرُوفِۖ حَقًّا عَلَى ٱلۡمُتَّقِينَ

241. (Mu ngeri y'emu) n'abakyala ababa batalakiddwa bateekeddwa okusibirirwa mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu kwabo abatya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
242 : 2

كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ

242. Bwatyo nno Katonda bw'abannyonnyola ebigambo bye mulyooke mutegeere. info
التفاسير:

external-link copy
243 : 2

۞ أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ خَرَجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَهُمۡ أُلُوفٌ حَذَرَ ٱلۡمَوۡتِ فَقَالَ لَهُمُ ٱللَّهُ مُوتُواْ ثُمَّ أَحۡيَٰهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ

243. Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi nankumi nga batya okufa, Katonda n'abagamba nti kale mufe, oluvanyuma n'abazuukiza. Mazima Katonda agabirira nnyo abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza. info
التفاسير:

external-link copy
244 : 2

وَقَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ

244. Mulwane mu kkubo lya Katonda era mumanye nti mazima ddala Katonda awulira era muyitirivu wa kumanya. info
التفاسير:

external-link copy
245 : 2

مَّن ذَا ٱلَّذِي يُقۡرِضُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا فَيُضَٰعِفَهُۥ لَهُۥٓ أَضۡعَافٗا كَثِيرَةٗۚ وَٱللَّهُ يَقۡبِضُ وَيَبۡصُۜطُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

245. Ani oyo awola Katonda okuwola okulungi alyoke abe nga akumubalizaamu emirundi emingi. Era Katonda y'afunza era n'agaziya (enfuna y’omuntu) so nga era gyali gye mulizzibwa. info
التفاسير: