Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Numri i faqes:close

external-link copy
6 : 2

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ سَوَآءٌ عَلَيۡهِمۡ ءَأَنذَرۡتَهُمۡ أَمۡ لَمۡ تُنذِرۡهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ

6. Mazima abo abatakkiriza (ebyo ebyassibwa ku Nabbi Muhammad) kyenkanankana gye bali, obatiisizza oba tobatiisizza ssi ba kukkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 2

خَتَمَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَعَلَىٰ سَمۡعِهِمۡۖ وَعَلَىٰٓ أَبۡصَٰرِهِمۡ غِشَٰوَةٞۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ

7. Katonda yazibikira emitima gyabwe n’okuwulira kwabwe, nga ne ku maaso gaabwe kuliko ekibikka. Era balina e bibonerezo ebinene. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 2

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَقُولُ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَبِٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَمَا هُم بِمُؤۡمِنِينَ

8. Era waliwo abantu abamu abagamba nti tukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero so nga ssi bakkiriza (bannanfuusi). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 2

يُخَٰدِعُونَ ٱللَّهَ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَمَا يَخۡدَعُونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ

9. Bakwenyakwenya Katonda awamu n'abakkiriza so nga beekwenyakwenya bokka naye bambi tebakitegeera. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 2

فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ فَزَادَهُمُ ٱللَّهُ مَرَضٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمُۢ بِمَا كَانُواْ يَكۡذِبُونَ

10. Balina obulwadde mu mitima gyabwe. Katonda n'abongera obulwadde, era balina n'ekibonerezo ekiruma olw'ebyo bye baalimbanga. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 2

وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ لَا تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ قَالُوٓاْ إِنَّمَا نَحۡنُ مُصۡلِحُونَ

11. Bwe bagambibwa nti temwonoona mu nsi. Bagamba nti, mazima ddala ffe tuli bakozi ba bulungi. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 2

أَلَآ إِنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡمُفۡسِدُونَ وَلَٰكِن لَّا يَشۡعُرُونَ

12. So ng' ate mazima ddala bo be bonoonyi naye tebakitegeera. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 2

وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ ءَامِنُواْ كَمَآ ءَامَنَ ٱلنَّاسُ قَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ كَمَآ ءَامَنَ ٱلسُّفَهَآءُۗ أَلَآ إِنَّهُمۡ هُمُ ٱلسُّفَهَآءُ وَلَٰكِن لَّا يَعۡلَمُونَ

13. Era bwebaba bagambiddwa nti mukkirize nga abantu (abalala) bwe bakkiriza. Baddamu nti, tukkirize nga ababuyabuya bwe bakkiriza? abange mazima ddala bo be babuyabuya naye tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 2

وَإِذَا لَقُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ إِلَىٰ شَيَٰطِينِهِمۡ قَالُوٓاْ إِنَّا مَعَكُمۡ إِنَّمَا نَحۡنُ مُسۡتَهۡزِءُونَ

14. Bwe basisinkana n'abakkiriza bagamba nti tukkirizza, bwe badda eri abakulembeze baabwe bagamba nti mazima ddala ffe tuli wamu nammwe. Mazima bali tubaguyaaguya buguyaaguya. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 2

ٱللَّهُ يَسۡتَهۡزِئُ بِهِمۡ وَيَمُدُّهُمۡ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ

15. Katonda abaguyaaguya era n'abongerayo mu bubuze bwabwe nga babulubuuta. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 2

أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلضَّلَٰلَةَ بِٱلۡهُدَىٰ فَمَا رَبِحَت تِّجَٰرَتُهُمۡ وَمَا كَانُواْ مُهۡتَدِينَ

16. Abo b'ebo abaagula obubuze mu bulungamu. Okusuubula kwabwe tekwakola magoba, era tebaali ba kulungama. info
التفاسير: