Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Numri i faqes:close

external-link copy
77 : 2

أَوَلَا يَعۡلَمُونَ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَ

77. Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo byebakisa n'ebyo bye boolesa. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 2

وَمِنۡهُمۡ أُمِّيُّونَ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّآ أَمَانِيَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَظُنُّونَ

78. Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taurat). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kyebaliko, okugyako bateebereza buteebereza. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 2

فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ يَكۡتُبُونَ ٱلۡكِتَٰبَ بِأَيۡدِيهِمۡ ثُمَّ يَقُولُونَ هَٰذَا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ لِيَشۡتَرُواْ بِهِۦ ثَمَنٗا قَلِيلٗاۖ فَوَيۡلٞ لَّهُم مِّمَّا كَتَبَتۡ أَيۡدِيهِمۡ وَوَيۡلٞ لَّهُم مِّمَّا يَكۡسِبُونَ

79. Okubonaabona okwamaanyi kuli eri abo abawandiika ekitabo n'emikono gyabwe, bwebamala ne bagamba nti kino kivudde eri Katonda, nga kyebagenderera kuwaanyisaamu (byakufuna bya nsi) eby'omuwendo ogwa wansi. Bagenda kutuukwako okubonaabona olw'ebyo emikono gyabwe bye gyawandiika, ng'era bwe bagenda okutuukwako okubonaabona olw'ebyo bye baafunamu. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 2

وَقَالُواْ لَن تَمَسَّنَا ٱلنَّارُ إِلَّآ أَيَّامٗا مَّعۡدُودَةٗۚ قُلۡ أَتَّخَذۡتُمۡ عِندَ ٱللَّهِ عَهۡدٗا فَلَن يُخۡلِفَ ٱللَّهُ عَهۡدَهُۥٓۖ أَمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ

80. Era (Abayudaaya) baagamba nti, omuliro tegugenda kututuukako okugyako nnaku mbale. Bagambe; mwakola endagaano ne Katonda, Katonda alyoke abe nga tagenda ku gyawukanako? Oba mwogera ku Katonda bye mutamanyi? info
التفاسير:

external-link copy
81 : 2

بَلَىٰۚ مَن كَسَبَ سَيِّئَةٗ وَأَحَٰطَتۡ بِهِۦ خَطِيٓـَٔتُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

81. Wabula omuntu bw'akola ekibi, ekyonoono kye ne kimumalawo; abantu abo baakuyingira omuliro era nga baakugutuulamu bugenderevu. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 2

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

82. Ate bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi; abo be bookuyingira enyumba ey'emirembe; era bo baakutuulamu bugenderevu. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 2

وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ لَا تَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَانٗا وَذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَقُولُواْ لِلنَّاسِ حُسۡنٗا وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ ثُمَّ تَوَلَّيۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنكُمۡ وَأَنتُم مُّعۡرِضُونَ

83. Era mujjukire lwe twakozesa abaana ba Israel endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okugyako Katonda. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo e sswala, mutoole ne zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okugyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano. info
التفاسير: