Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Numri i faqes:close

external-link copy
146 : 2

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَعۡرِفُونَهُۥ كَمَا يَعۡرِفُونَ أَبۡنَآءَهُمۡۖ وَإِنَّ فَرِيقٗا مِّنۡهُمۡ لَيَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ

146. Abo betwawa ekitabo bakimanyi bulungi nga bwe bamanyi abaana baabwe. Wabula ekibinja mu bo bakwekera ddala amazima ng'ate bamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
147 : 2

ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ

147. Gano ge mazima agava eri Katonda wo. Tobeereranga ddala n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa. info
التفاسير:

external-link copy
148 : 2

وَلِكُلّٖ وِجۡهَةٌ هُوَ مُوَلِّيهَاۖ فَٱسۡتَبِقُواْ ٱلۡخَيۡرَٰتِۚ أَيۡنَ مَا تَكُونُواْ يَأۡتِ بِكُمُ ٱللَّهُ جَمِيعًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ

148. Buli bantu balina oludda lweboolekera. Kale (mmwe abakkiriza) muvuganye mu kukola ebirungi. Yonna gye muliba mwenna, Katonda agenda kubaleeta. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu kyonna. info
التفاسير:

external-link copy
149 : 2

وَمِنۡ حَيۡثُ خَرَجۡتَ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۖ وَإِنَّهُۥ لَلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ

149. Na buli wonna wonoogendanga yolekeza obwanga bwo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Era ddala gano ge mazima okuva eri Katonda wo. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
150 : 2

وَمِنۡ حَيۡثُ خَرَجۡتَ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۚ وَحَيۡثُ مَا كُنتُمۡ فَوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ شَطۡرَهُۥ لِئَلَّا يَكُونَ لِلنَّاسِ عَلَيۡكُمۡ حُجَّةٌ إِلَّا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡ فَلَا تَخۡشَوۡهُمۡ وَٱخۡشَوۡنِي وَلِأُتِمَّ نِعۡمَتِي عَلَيۡكُمۡ وَلَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ

150. Na buli wonna won'abanga ogenze yolekeza ekyenyikyo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemunaabeeranga mwolekezenga ebyenyi byammwe oluuyi olwo, waleme kubaawo nsonga yonna bantu gyebeekwasa okugyako abo abalyazamaanyi mu bo. Temubatya, nze (Katonda) gwemuba mutya. Olwonno mbajjulize ebyengera byange, nammwe kibabeerere ensonga y'okulungama. info
التفاسير:

external-link copy
151 : 2

كَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِيكُمۡ رَسُولٗا مِّنكُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِنَا وَيُزَكِّيكُمۡ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَيُعَلِّمُكُم مَّا لَمۡ تَكُونُواْ تَعۡلَمُونَ

151. Kino kiringa bwe twabatumira omubaka ng'ava mu mmwe n'abeera ng'abasomera ebigambo byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza ekitabo n'abayigiriza n'okunnyonnyola, n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
152 : 2

فَٱذۡكُرُونِيٓ أَذۡكُرۡكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لِي وَلَا تَكۡفُرُونِ

152. Kale nno munzijukire nga munjogerako. Nja kubajjukira. Era munneebaze, temunjeemeranga. info
التفاسير:

external-link copy
153 : 2

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّٰبِرِينَ

153. Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza. info
التفاسير: