Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Numri i faqes:close

external-link copy
154 : 2

وَلَا تَقُولُواْ لِمَن يُقۡتَلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتُۢۚ بَلۡ أَحۡيَآءٞ وَلَٰكِن لَّا تَشۡعُرُونَ

154. Era temwogeranga kwabo abattibwa mu kkubo lya Katonda mbu bafu. Go amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe). info
التفاسير:

external-link copy
155 : 2

وَلَنَبۡلُوَنَّكُم بِشَيۡءٖ مِّنَ ٱلۡخَوۡفِ وَٱلۡجُوعِ وَنَقۡصٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَنفُسِ وَٱلثَّمَرَٰتِۗ وَبَشِّرِ ٱلصَّٰبِرِينَ

155. Era ddala tujja kubagezesa, mu bintu nga okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kwa bantu, n'okukendeera kwe bibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza. info
التفاسير:

external-link copy
156 : 2

ٱلَّذِينَ إِذَآ أَصَٰبَتۡهُم مُّصِيبَةٞ قَالُوٓاْ إِنَّا لِلَّهِ وَإِنَّآ إِلَيۡهِ رَٰجِعُونَ

156. Abo b'ebo bwe baba nga batuukiddwako obuzibu bwonna bagamba (nti) mazima ffe twava eri Katonda era ddala tuli bakudda gy'ali. info
التفاسير:

external-link copy
157 : 2

أُوْلَٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ صَلَوَٰتٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَرَحۡمَةٞۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُهۡتَدُونَ

157. Abo nno balina okusonyiyibwa n'okusaasirwa okuva eri mukama Katonda waabwe, era abo be baluŋŋamu. info
التفاسير:

external-link copy
158 : 2

۞ إِنَّ ٱلصَّفَا وَٱلۡمَرۡوَةَ مِن شَعَآئِرِ ٱللَّهِۖ فَمَنۡ حَجَّ ٱلۡبَيۡتَ أَوِ ٱعۡتَمَرَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِ أَن يَطَّوَّفَ بِهِمَاۚ وَمَن تَطَوَّعَ خَيۡرٗا فَإِنَّ ٱللَّهَ شَاكِرٌ عَلِيمٌ

158. Mazima akasozi Swaffa n'akasozi Maruwa bubalibwa mu bifo ebisinzibwamu mukama Katonda. Kale nno omuntu aba azze okwetooloola e nyumba ya Katonda (Kaaba) oba ng'azze kukola mikolo gya Umura tasaanye kutya kudduka wakati wobusozi bwombiriri. N'omuntu okukola obulungi mu ngeri ya kyeyagalire, (mumanye nti) Katonda asiima nnyo era mumanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
159 : 2

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡتُمُونَ مَآ أَنزَلۡنَا مِنَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلۡهُدَىٰ مِنۢ بَعۡدِ مَا بَيَّنَّٰهُ لِلنَّاسِ فِي ٱلۡكِتَٰبِ أُوْلَٰٓئِكَ يَلۡعَنُهُمُ ٱللَّهُ وَيَلۡعَنُهُمُ ٱللَّٰعِنُونَ

159. Mazima abo abakweka ebyo byetwassa nga obujulizi era nga obulungamu oluvanyuma nga tumaze okubinnyonnyola abantu mu kitabo kyabwe. Abo nno Katonda abakolimira n'abakolimi bonna ne babakolimira. info
التفاسير:

external-link copy
160 : 2

إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ وَأَصۡلَحُواْ وَبَيَّنُواْ فَأُوْلَٰٓئِكَ أَتُوبُ عَلَيۡهِمۡ وَأَنَا ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ

160. Okugyako abo abeenenya ne balongoosa, nebannyonnyola ebyo (bye baakweka). Abonno, nzikiriza okwenenya kwabwe ate nze muyitirivu w'okukkiriza okwenenya era omuyitirivu w'okusaasira. info
التفاسير:

external-link copy
161 : 2

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٌ أُوْلَٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ لَعۡنَةُ ٱللَّهِ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ

161. Mazima abo abaakaafuwala ne bafiira ku bukaafiiri; Abo baliko ekikolimo okuva ewa Katonda n'okuva eri ba malayika n'abantu bonna. info
التفاسير:

external-link copy
162 : 2

خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ

162. (Abantu abo) Baakubeera mu muliro obugenderevu, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo ng'era bwebatagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa). info
التفاسير:

external-link copy
163 : 2

وَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلرَّحۡمَٰنُ ٱلرَّحِيمُ

163. Mazima Katonda wa mmwe ali omu, tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye omusaasizi omuyitirivu wokusaasira aliba n'okusaasira okwenjawulo (ku lunaku lw'enkomerero). info
التفاسير: