Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Numri i faqes:close

external-link copy
164 : 2

إِنَّ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَٱلۡفُلۡكِ ٱلَّتِي تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِمَا يَنفَعُ ٱلنَّاسَ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن مَّآءٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَآبَّةٖ وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ وَٱلسَّحَابِ ٱلۡمُسَخَّرِ بَيۡنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

164. Mazima mu kutonda eggulu ery'emiko omusanvu ne nsi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Katonda gassa okuva wa ggulu, n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okuba nga efudde, nassa mu nsi buli kiramu ekigiriko, n'okutambuza empewo era n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu ne nsi. (Ebyo byonna) bubonero obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe eri abantu abategeera. info
التفاسير:

external-link copy
165 : 2

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَتَّخِذُ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَندَادٗا يُحِبُّونَهُمۡ كَحُبِّ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَشَدُّ حُبّٗا لِّلَّهِۗ وَلَوۡ يَرَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِذۡ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ أَنَّ ٱلۡقُوَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا وَأَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعَذَابِ

165. Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza. info
التفاسير:

external-link copy
166 : 2

إِذۡ تَبَرَّأَ ٱلَّذِينَ ٱتُّبِعُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُواْ وَرَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَ وَتَقَطَّعَتۡ بِهِمُ ٱلۡأَسۡبَابُ

166. Mu kiseera abaagobererwa webalyegaanira abaabagobereranga era ne baliraba ku bibonerezo, n'ensonga ezaabagattanga ne zikutukawo. info
التفاسير:

external-link copy
167 : 2

وَقَالَ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُواْ لَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةٗ فَنَتَبَرَّأَ مِنۡهُمۡ كَمَا تَبَرَّءُواْ مِنَّاۗ كَذَٰلِكَ يُرِيهِمُ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡ حَسَرَٰتٍ عَلَيۡهِمۡۖ وَمَا هُم بِخَٰرِجِينَ مِنَ ٱلنَّارِ

167. Abaagobereranga bagenda kugamba nti; singa tubadde baakudda ku nsi naffe netubeegaana nga bwe batwegaanyi. Bwatyo Katonda agenda kubalaga okufaafaagana kw'emirimu gyabwe (gyebaakolanga ku nsi) era si bakuva mu muliro. info
التفاسير:

external-link copy
168 : 2

يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ كُلُواْ مِمَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ حَلَٰلٗا طَيِّبٗا وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٌ

168. Abange mmwe abantu mulye ebiri mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugobereranga amakubo ga sitaani anti ye mulabe wa mmwe wa lwatu. info
التفاسير:

external-link copy
169 : 2

إِنَّمَا يَأۡمُرُكُم بِٱلسُّوٓءِ وَٱلۡفَحۡشَآءِ وَأَن تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ

169. Mazima sitaani abalagira kukola bibi, na by'abugwenyufu, n'okwogera ku Katonda ebyo bye mutamanyi. info
التفاسير: