Vertaling van de betekenissen Edele Qur'an - Luganda-vertaling - Afrikaanse Ontwikkelingsstichting

Pagina nummer:close

external-link copy
32 : 24

وَأَنكِحُواْ ٱلۡأَيَٰمَىٰ مِنكُمۡ وَٱلصَّٰلِحِينَ مِنۡ عِبَادِكُمۡ وَإِمَآئِكُمۡۚ إِن يَكُونُواْ فُقَرَآءَ يُغۡنِهِمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ

32 . Mufumbize mu mmwe abatali bafumbo, nabwekityo mufumbiriganye abalongoofu mu baddu ba mmwe n'abazaana ba mmwe, bwe baba baavu Katonda ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye bulijjo Katonda mugazi (mu byalina) mumanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 24

وَلۡيَسۡتَعۡفِفِ ٱلَّذِينَ لَا يَجِدُونَ نِكَاحًا حَتَّىٰ يُغۡنِيَهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦۗ وَٱلَّذِينَ يَبۡتَغُونَ ٱلۡكِتَٰبَ مِمَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡ فَكَاتِبُوهُمۡ إِنۡ عَلِمۡتُمۡ فِيهِمۡ خَيۡرٗاۖ وَءَاتُوهُم مِّن مَّالِ ٱللَّهِ ٱلَّذِيٓ ءَاتَىٰكُمۡۚ وَلَا تُكۡرِهُواْ فَتَيَٰتِكُمۡ عَلَى ٱلۡبِغَآءِ إِنۡ أَرَدۡنَ تَحَصُّنٗا لِّتَبۡتَغُواْ عَرَضَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَمَن يُكۡرِههُّنَّ فَإِنَّ ٱللَّهَ مِنۢ بَعۡدِ إِكۡرَٰهِهِنَّ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

33 . Abo abatasobola kuwasa bateekwa okwessaamu ensa okutuusa Katonda lwabawa ekimala ekyetaago kya bwe nga aggya mu bigabwabye, ate abo abasaba okuweebwa ekiwandiiko (ekibakkiriza okunoonya sente beenunule) mu baddu ba mmwe abo emikono gya mmwe egya ddyo be gyafuna mukibawandiikire singa mubalabamu akalungi, (mmwe abakulembeze) mubawe nga ku mmaali ya Katonda eyo gye yabawa, era temuwalirizanga abazaana ba mmwe okukola obwa malaaya (mu kikola mutya) ng'ate bbo baagala kuba na nsa! (ekibatuusa okukola ekyo) lwa kwagala kufuna bya bulamu byansi, oyo yenna abawaliriza mazima Katonda oluvanyuma lw'okubawaliriza musonyiyi musaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 24

وَلَقَدۡ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ ءَايَٰتٖ مُّبَيِّنَٰتٖ وَمَثَلٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلِكُمۡ وَمَوۡعِظَةٗ لِّلۡمُتَّقِينَ

34 . Era mazima twassa gye muli ebigambo (bya Kur'an) ebinnyonnyola, era (netussa) eby'okulabirako ebikwata ku abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe era ekyo nga kya kubuulirira eri abatya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 24

۞ ٱللَّهُ نُورُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ مَثَلُ نُورِهِۦ كَمِشۡكَوٰةٖ فِيهَا مِصۡبَاحٌۖ ٱلۡمِصۡبَاحُ فِي زُجَاجَةٍۖ ٱلزُّجَاجَةُ كَأَنَّهَا كَوۡكَبٞ دُرِّيّٞ يُوقَدُ مِن شَجَرَةٖ مُّبَٰرَكَةٖ زَيۡتُونَةٖ لَّا شَرۡقِيَّةٖ وَلَا غَرۡبِيَّةٖ يَكَادُ زَيۡتُهَا يُضِيٓءُ وَلَوۡ لَمۡ تَمۡسَسۡهُ نَارٞۚ نُّورٌ عَلَىٰ نُورٖۚ يَهۡدِي ٱللَّهُ لِنُورِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَيَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَ لِلنَّاسِۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ

35 . Katonda kitangaala ky'eggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaalakye kiringa akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bwe yaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge kya kafo ako, ekiyamba abali mu kisenge kya kafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, nekiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala kye ttaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bwogattako amafuta amalungi ennyo negubula asala). Katonda alungamya eri ekitangaalakye oyo gwaba ayagadde era Katonda akubira abantu ebifaananyi era Katonda bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 24

فِي بُيُوتٍ أَذِنَ ٱللَّهُ أَن تُرۡفَعَ وَيُذۡكَرَ فِيهَا ٱسۡمُهُۥ يُسَبِّحُ لَهُۥ فِيهَا بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ

36 . Mu mayumba (e mizikiti) Katonda geyakkiriza gazimbibwe era n'alagira erinnyalye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) bamutendereza mu go enkya n'olweggulo. info
التفاسير: