Vertaling van de betekenissen Edele Qur'an - Luganda-vertaling - Afrikaanse Ontwikkelingsstichting

Pagina nummer:close

external-link copy
21 : 24

۞ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ وَمَن يَتَّبِعۡ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِ فَإِنَّهُۥ يَأۡمُرُ بِٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۚ وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ مَا زَكَىٰ مِنكُم مِّنۡ أَحَدٍ أَبَدٗا وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يُزَكِّي مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ

21 . Abange mmwe abakkiriza temugobereranga amakubo ga Sitaane, oyo yenna agoberera amakubo ga Sitane anti yye (Sitaane) alagira okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa, era singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa olubeerera, teyanditukudde muntu yenna mu mmwe, naye mazima Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde mazima Katonda awulira mumanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 24

وَلَا يَأۡتَلِ أُوْلُواْ ٱلۡفَضۡلِ مِنكُمۡ وَٱلسَّعَةِ أَن يُؤۡتُوٓاْ أُوْلِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينَ وَٱلۡمُهَٰجِرِينَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ وَلۡيَعۡفُواْ وَلۡيَصۡفَحُوٓاْۗ أَلَا تُحِبُّونَ أَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٌ

22 . Abeeyisa obulungi mu ddiini era abagaziyizibwa mu byenfuna tebalayiranga obutawa ab'oluganda olw'okumpi n'abanaku n'abaasenguka olw'okuweereza mu kkubo lya Katonda. Basaana basonyiwe era balekere, abaffe (mmwe) temwagala Katonda kubasonyiwa era nga bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 24

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَرۡمُونَ ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ ٱلۡغَٰفِلَٰتِ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ لُعِنُواْ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ

23 . Mazima abo abatemerera obwenzi abakyala ab'ensa abatalina musango abakkiriza, bakolimirwa ku nsi ne ku nkomerero era balissibwako ebibonerezo eby'amaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 24

يَوۡمَ تَشۡهَدُ عَلَيۡهِمۡ أَلۡسِنَتُهُمۡ وَأَيۡدِيهِمۡ وَأَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

24 . Ku lunaku ennimi zaabwe n'emikono gya bwe lwe biribawaako obujulizi olw'ebyo bye baakolanga. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 24

يَوۡمَئِذٖ يُوَفِّيهِمُ ٱللَّهُ دِينَهُمُ ٱلۡحَقَّ وَيَعۡلَمُونَ أَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ ٱلۡمُبِينُ

25 . Ku lunaku olwo Katonda agenda kubasasula mu bujjuvu empeera yaabwe ebasaanira, era bagenda kumanya nti mazima Katonda yye ye mazima owa nnamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 24

ٱلۡخَبِيثَٰتُ لِلۡخَبِيثِينَ وَٱلۡخَبِيثُونَ لِلۡخَبِيثَٰتِۖ وَٱلطَّيِّبَٰتُ لِلطَّيِّبِينَ وَٱلطَّيِّبُونَ لِلطَّيِّبَٰتِۚ أُوْلَٰٓئِكَ مُبَرَّءُونَ مِمَّا يَقُولُونَۖ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ

26 . Abakazi ab'empisa embi ba basajja ab'empisa embi, n'abasajja ab'empisa embi ba bakazi ab'empisa embi, n'abakazi abeeyisa obulungi ba basajja abeeyisa obulungi, n'abasajja abeeyisa obulungi ba bakazi abeeyisa obulungi, abo (bebatemerera obwenzi) batukuvu ku ebyo (bali) bye boogera, balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 24

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَدۡخُلُواْ بُيُوتًا غَيۡرَ بُيُوتِكُمۡ حَتَّىٰ تَسۡتَأۡنِسُواْ وَتُسَلِّمُواْ عَلَىٰٓ أَهۡلِهَاۚ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ

27 . Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga amayumba agatali mayumba gammwe okugyako nga musabye era ne mutoolera abantu baamu ssalaamu ekyo kye kirungi gye muli kibayambe mujjukire. info
التفاسير: