Vertaling van de betekenissen Edele Qur'an - Luganda-vertaling - Afrikaanse Ontwikkelingsstichting

Pagina nummer:close

external-link copy
62 : 24

إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَإِذَا كَانُواْ مَعَهُۥ عَلَىٰٓ أَمۡرٖ جَامِعٖ لَّمۡ يَذۡهَبُواْ حَتَّىٰ يَسۡتَـٔۡذِنُوهُۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَسۡتَـٔۡذِنُونَكَ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۚ فَإِذَا ٱسۡتَـٔۡذَنُوكَ لِبَعۡضِ شَأۡنِهِمۡ فَأۡذَن لِّمَن شِئۡتَ مِنۡهُمۡ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لَهُمُ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

62 . Mazima abakkiriza beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe era bwe baba naye ku nsonga ebakwatako bonna tebayinza kuvaawo okugyako nga bamaze kumusaba, mazima abo abakusaba okubakkiriza bagende, abo beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe, kale bwe baba bakusabye olw'ezimu ku nsonga zaabwe wa olukusa oyo gwoba oyagadde mu bo era osabe Katonda abawe ekisonyiwo, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 24

لَّا تَجۡعَلُواْ دُعَآءَ ٱلرَّسُولِ بَيۡنَكُمۡ كَدُعَآءِ بَعۡضِكُم بَعۡضٗاۚ قَدۡ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ يَتَسَلَّلُونَ مِنكُمۡ لِوَاذٗاۚ فَلۡيَحۡذَرِ ٱلَّذِينَ يُخَالِفُونَ عَنۡ أَمۡرِهِۦٓ أَن تُصِيبَهُمۡ فِتۡنَةٌ أَوۡ يُصِيبَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ

63 . Temufuulanga engeri gye mukoowoola omubaka nga engeri gye mwekoowoolamu mwekka na mwekka, mazima Katonda amanyi abo abeemulula mu mmwe nga bebbirira, abo abaawukana ku kigambokye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 24

أَلَآ إِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قَدۡ يَعۡلَمُ مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ وَيَوۡمَ يُرۡجَعُونَ إِلَيۡهِ فَيُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُواْۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمُۢ

64 . Abange, mazima bya Katonda yekka ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima amanya ekyo kye mubaako era amanyi olunaku lwe baliddizibwa gyali olwonno abategeeze bye bakola era Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu. info
التفاسير: