ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
174 : 3

فَٱنقَلَبُواْ بِنِعۡمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَضۡلٖ لَّمۡ يَمۡسَسۡهُمۡ سُوٓءٞ وَٱتَّبَعُواْ رِضۡوَٰنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ ذُو فَضۡلٍ عَظِيمٍ

174. (Omulabe yabadduka awatali kulwana kwonna) ate nebadda ewaboobwe nga bafunye ebyengera okuva ewa Katonda n'obulungi obungi awatali kutuukwako kabi konna, (mukukola ebyo byonna) baali bayayaanira kusiima kwa Katonda, anti bulijjo Katonda alina obulungi bungi. info
التفاسير:

external-link copy
175 : 3

إِنَّمَا ذَٰلِكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ يُخَوِّفُ أَوۡلِيَآءَهُۥ فَلَا تَخَافُوهُمۡ وَخَافُونِ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ

175. Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
176 : 3

وَلَا يَحۡزُنكَ ٱلَّذِينَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡكُفۡرِۚ إِنَّهُمۡ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۚ يُرِيدُ ٱللَّهُ أَلَّا يَجۡعَلَ لَهُمۡ حَظّٗا فِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ

176. Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obukafiiri, mazima bo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala babe nga tebaba namugabo gwonna ku lunaku lw’enkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
177 : 3

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلۡكُفۡرَ بِٱلۡإِيمَٰنِ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

177. Mazima abo abawaanyisa obukafiiri mu bukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
178 : 3

وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ خَيۡرٞ لِّأَنفُسِهِمۡۚ إِنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِثۡمٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ

178. Era abo abakaafuwala tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyomesa. info
التفاسير:

external-link copy
179 : 3

مَّا كَانَ ٱللَّهُ لِيَذَرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ عَلَىٰ مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ حَتَّىٰ يَمِيزَ ٱلۡخَبِيثَ مِنَ ٱلطَّيِّبِۗ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُطۡلِعَكُمۡ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَجۡتَبِي مِن رُّسُلِهِۦ مَن يَشَآءُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۚ وَإِن تُؤۡمِنُواْ وَتَتَّقُواْ فَلَكُمۡ أَجۡرٌ عَظِيمٞ

179. Katonda teyali w'akuleka bakkiriza kw’ekyo kyemuliko okugyako ngamaze okwawula ababi mu balungi, era Katonda teyali waakubalaga ebyo ebitalabika, naye mazima ddala Katonda alonda mu babaka be oyo gwaba ayagadde, kale mukkirize Katonda nababakabe, ate singa mukkiriza nemutya (Katonda) mujja kufuna empeera enzito. info
التفاسير:

external-link copy
180 : 3

وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ يَبۡخَلُونَ بِمَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ هُوَ خَيۡرٗا لَّهُمۖ بَلۡ هُوَ شَرّٞ لَّهُمۡۖ سَيُطَوَّقُونَ مَا بَخِلُواْ بِهِۦ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ وَلِلَّهِ مِيرَٰثُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ

180. Abo abaakodowalira ebyo Katonda byeyababawa mu bigabwabye, tebalowoozanga nti ekyo kirungi gyebali, wabula kyo kibi gyebali ku lunaku lw’enkomerero bagenda kwambazibwa mu bulago ebyo byebaakodowaliranga, bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi era bulijjo Katonda amanyi mu bujjuvu byonna byemukola. info
التفاسير: