ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
166 : 3

وَمَآ أَصَٰبَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ فَبِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَلِيَعۡلَمَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

166. N’ekyo ekyabatuukako olunaku ebibinja ebibiri lwebyasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima. info
التفاسير:

external-link copy
167 : 3

وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ نَافَقُواْۚ وَقِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ قَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَوِ ٱدۡفَعُواْۖ قَالُواْ لَوۡ نَعۡلَمُ قِتَالٗا لَّٱتَّبَعۡنَٰكُمۡۗ هُمۡ لِلۡكُفۡرِ يَوۡمَئِذٍ أَقۡرَبُ مِنۡهُمۡ لِلۡإِيمَٰنِۚ يَقُولُونَ بِأَفۡوَٰهِهِم مَّا لَيۡسَ فِي قُلُوبِهِمۡۚ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يَكۡتُمُونَ

167. Mu ngeri yeemu ayawule abo abanafunsi era abaagambibwa nti mujje mulwane mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba waakiri mujje twetaase tusindiikirize omulabe nebaddamu nti, singa tubadde tukakasa nti waliyo okulwana twaligenze nammwe, ku lunaku olwo nga bali kumpi nnyo n’obukafiiri okusinga okubeera n’obukkiriza, boogera nemimwa gyaabwe ebitava mu mitima gyabwe, ate nga bulijjo Katonda amanyi nnyo byebakweka. info
التفاسير:

external-link copy
168 : 3

ٱلَّذِينَ قَالُواْ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ وَقَعَدُواْ لَوۡ أَطَاعُونَا مَا قُتِلُواْۗ قُلۡ فَٱدۡرَءُواْ عَنۡ أَنفُسِكُمُ ٱلۡمَوۡتَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

168. Abo (Abananfusi) abagamba bannaabwe (ab’agenda ku lutalo) bo nebasigala nga b'etuulidde eka nti singa baatuwuliriza tebandittiddwa. Bagambe (Gwe Muhammad) nti kale mwewonye okufa bwe muba nga muli b'amazima mu byemwogera. info
التفاسير:

external-link copy
169 : 3

وَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ قُتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتَۢاۚ بَلۡ أَحۡيَآءٌ عِندَ رَبِّهِمۡ يُرۡزَقُونَ

169. Tolowoozanga nti abo abattirwa ku kuweereza mu kkubo lya Katonda nti bafu, nedda wabula balamu, era nga bagabirirwa ewa Mukama Katonda waabwe. info
التفاسير:

external-link copy
170 : 3

فَرِحِينَ بِمَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ وَيَسۡتَبۡشِرُونَ بِٱلَّذِينَ لَمۡ يَلۡحَقُواْ بِهِم مِّنۡ خَلۡفِهِمۡ أَلَّا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ

170. Nga bajaganya olw’ebyo Katonda byabawa mubigabwabye, era nga basanyuka olwa bannaabwe bebaleka ku nsi nti tebatuukiddwako kutya, era nga bwebatagenda kunakuwala. info
التفاسير:

external-link copy
171 : 3

۞ يَسۡتَبۡشِرُونَ بِنِعۡمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَضۡلٖ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

171. Nga basanyuka olwebyengera, n’obulungi obungi ebivudde ewa Katonda, era mazima ddala Katonda bulijjo talina bwatayinza kusasula mpeera z’abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
172 : 3

ٱلَّذِينَ ٱسۡتَجَابُواْ لِلَّهِ وَٱلرَّسُولِ مِنۢ بَعۡدِ مَآ أَصَابَهُمُ ٱلۡقَرۡحُۚ لِلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ مِنۡهُمۡ وَٱتَّقَوۡاْ أَجۡرٌ عَظِيمٌ

172. Abo abaayanukula (okukowoola kwa)Katonda n'omubaka (nebakkiriza okuddayo okulwana) oluvanyuma lwokutuukibwako obulumi bwolutalo, abeeyisa obulungi mu bo nebatya Katonda bagenda kufuna empeera nnyingi. info
التفاسير:

external-link copy
173 : 3

ٱلَّذِينَ قَالَ لَهُمُ ٱلنَّاسُ إِنَّ ٱلنَّاسَ قَدۡ جَمَعُواْ لَكُمۡ فَٱخۡشَوۡهُمۡ فَزَادَهُمۡ إِيمَٰنٗا وَقَالُواْ حَسۡبُنَا ٱللَّهُ وَنِعۡمَ ٱلۡوَكِيلُ

173. Abo abantu (Abagatta Katonda ne bintu ebirala) bebaagamba nti mazima (Abantu bemwalwanye nabo) babeekobaanidde baagala kubaddamu nvuunula bibya musaanye mubeegendereze (ekintu ekyandibaleetedde okutya) naye ate kyabongera bukkiriza, era nebagamba nti Katonda atumala era yemukuumi asinga obulungi. info
التفاسير: