ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
101 : 3

وَكَيۡفَ تَكۡفُرُونَ وَأَنتُمۡ تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ وَفِيكُمۡ رَسُولُهُۥۗ وَمَن يَعۡتَصِم بِٱللَّهِ فَقَدۡ هُدِيَ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

101. Muyinza mutya okukaafuwala nga ate musomerwa ebigambo bya Katonda era nga omubaka we ali mu mmwe, oyo yenna eyeekwata ku Katonda aba alungamiziddwa mu kkubo eggolokofu. info
التفاسير:

external-link copy
102 : 3

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ حَقَّ تُقَاتِهِۦ وَلَا تَمُوتُنَّ إِلَّا وَأَنتُم مُّسۡلِمُونَ

102. Abange mmwe Abakkiriza mutye Katonda mubutuufu bwokumutya era temufanga okugyako nga muli Basiramu. info
التفاسير:

external-link copy
103 : 3

وَٱعۡتَصِمُواْ بِحَبۡلِ ٱللَّهِ جَمِيعٗا وَلَا تَفَرَّقُواْۚ وَٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ كُنتُمۡ أَعۡدَآءٗ فَأَلَّفَ بَيۡنَ قُلُوبِكُمۡ فَأَصۡبَحۡتُم بِنِعۡمَتِهِۦٓ إِخۡوَٰنٗا وَكُنتُمۡ عَلَىٰ شَفَا حُفۡرَةٖ مِّنَ ٱلنَّارِ فَأَنقَذَكُم مِّنۡهَاۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ

103. Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olwekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gwekinnya kyomuliro n'agubatasaako, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo bye mube nga mulungama. info
التفاسير:

external-link copy
104 : 3

وَلۡتَكُن مِّنكُمۡ أُمَّةٞ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلۡخَيۡرِ وَيَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۚ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

104. Wateekeddwa okuba mu mmwe ekibiina (Nga abakirimu) bakubiriza Abantu okudda eri obulungi era nga bakubiriza Abantu okuyisa obulungi era nga babaziyiza okweyisa obubi era abo be b'okwesiima (ku lunaku lw’enkomerero nebawona ebibonerezo bya Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
105 : 3

وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ تَفَرَّقُواْ وَٱخۡتَلَفُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُۚ وَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ

105. Temubeera nga abo abeetemamu nebaawukana oluvanyuma lw'obunnyonnyofu okubajjira, n’abo nno balina ebibonerezo ebyamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
106 : 3

يَوۡمَ تَبۡيَضُّ وُجُوهٞ وَتَسۡوَدُّ وُجُوهٞۚ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱسۡوَدَّتۡ وُجُوهُهُمۡ أَكَفَرۡتُم بَعۡدَ إِيمَٰنِكُمۡ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ

106. Ku lunaku ebyenyi lwebiritemagana ebirala nebisiiwuuka bo abo abalisiwuuka ebyenyi byabwe (baligambibwa nti ekibatuusizza kwekyo lwakuba nti) mwakafuwala oluvanyuma lwokuba nti mwali bakkiriza, n'olwekyo mukombe ku bukaawu bwebibonerezo olwebyo byemwawakanyanga. info
التفاسير:

external-link copy
107 : 3

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱبۡيَضَّتۡ وُجُوهُهُمۡ فَفِي رَحۡمَةِ ٱللَّهِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

107. Bo abo ebiritemagana ebyenyi byabwe baakubeera mu kusaasira kwa Katonda (jjana) bo baakubeeramu obugenderevu. info
التفاسير:

external-link copy
108 : 3

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۗ وَمَا ٱللَّهُ يُرِيدُ ظُلۡمٗا لِّلۡعَٰلَمِينَ

108. Ebyo bigambo bya Katonda tubikusomera mu butuufu bwabyo, Katonda tayagaliza bitonde kulyazamanyizibwa. info
التفاسير: