ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
154 : 3

ثُمَّ أَنزَلَ عَلَيۡكُم مِّنۢ بَعۡدِ ٱلۡغَمِّ أَمَنَةٗ نُّعَاسٗا يَغۡشَىٰ طَآئِفَةٗ مِّنكُمۡۖ وَطَآئِفَةٞ قَدۡ أَهَمَّتۡهُمۡ أَنفُسُهُمۡ يَظُنُّونَ بِٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ ظَنَّ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِۖ يَقُولُونَ هَل لَّنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ مِن شَيۡءٖۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَمۡرَ كُلَّهُۥ لِلَّهِۗ يُخۡفُونَ فِيٓ أَنفُسِهِم مَّا لَا يُبۡدُونَ لَكَۖ يَقُولُونَ لَوۡ كَانَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ شَيۡءٞ مَّا قُتِلۡنَا هَٰهُنَاۗ قُل لَّوۡ كُنتُمۡ فِي بُيُوتِكُمۡ لَبَرَزَ ٱلَّذِينَ كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَتۡلُ إِلَىٰ مَضَاجِعِهِمۡۖ وَلِيَبۡتَلِيَ ٱللَّهُ مَا فِي صُدُورِكُمۡ وَلِيُمَحِّصَ مَا فِي قُلُوبِكُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ

154. Ate oluvanyuma lwokwelariikirira Katonda yassa kummwe akalembereza kokwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyaabwe byebatakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba. info
التفاسير:

external-link copy
155 : 3

إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَلَّوۡاْ مِنكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ إِنَّمَا ٱسۡتَزَلَّهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِبَعۡضِ مَا كَسَبُواْۖ وَلَقَدۡ عَفَا ٱللَّهُ عَنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٞ

155. Mazima abo abeekyusa mu mmwe olunaku enjuyi ebbiri lwezaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olwebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa. info
التفاسير:

external-link copy
156 : 3

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَقَالُواْ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ إِذَا ضَرَبُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَوۡ كَانُواْ غُزّٗى لَّوۡ كَانُواْ عِندَنَا مَا مَاتُواْ وَمَا قُتِلُواْ لِيَجۡعَلَ ٱللَّهُ ذَٰلِكَ حَسۡرَةٗ فِي قُلُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ

156. Abange mmwe abakkiriza temubeera ng’abo abaakafuwala nebagamba bannaabwe bwebaabanga batambudde mu nsi, oba nga bagenze ku lutalo nti singa baasigala wano naffe tebandifudde wadde okuttibwa, (baafuna endowooza eyo) Katonda alyoke akifuule ekyokwejjusa mu mitima gyabwe naye nga bulijjo Katonda y’awa obulamu era yatta era buli kyonna kyemukola Katonda akiraba. info
التفاسير:

external-link copy
157 : 3

وَلَئِن قُتِلۡتُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَوۡ مُتُّمۡ لَمَغۡفِرَةٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَرَحۡمَةٌ خَيۡرٞ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ

157. Singa muttibwa nga muli mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba nemufa (enfa eyaabulijjo, mu ngeri zombi) okusonyiwa okuva eri Katonda n’okusaasira by’ebirungi okusinga ebyo byebakunganya. info
التفاسير: