ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
149 : 3

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تُطِيعُواْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَرُدُّوكُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡ فَتَنقَلِبُواْ خَٰسِرِينَ

149. Abange mmwe Abakkiriza bwemunaagondera abo Abaakafuwala bajja kubazzaayo ekyennyumannyuma mukyuke okuva mu bukkiriza, mubeere abafaafaganiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
150 : 3

بَلِ ٱللَّهُ مَوۡلَىٰكُمۡۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلنَّٰصِرِينَ

150. Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna info
التفاسير:

external-link copy
151 : 3

سَنُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ بِمَآ أَشۡرَكُواْ بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗاۖ وَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ وَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلظَّٰلِمِينَ

151. Tujja kussa okutya ku mitima gy’abo abaakafuwala kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bujulizi. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abeeyisa obubi buba bubi. info
التفاسير:

external-link copy
152 : 3

وَلَقَدۡ صَدَقَكُمُ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥٓ إِذۡ تَحُسُّونَهُم بِإِذۡنِهِۦۖ حَتَّىٰٓ إِذَا فَشِلۡتُمۡ وَتَنَٰزَعۡتُمۡ فِي ٱلۡأَمۡرِ وَعَصَيۡتُم مِّنۢ بَعۡدِ مَآ أَرَىٰكُم مَّا تُحِبُّونَۚ مِنكُم مَّن يُرِيدُ ٱلدُّنۡيَا وَمِنكُم مَّن يُرِيدُ ٱلۡأٓخِرَةَۚ ثُمَّ صَرَفَكُمۡ عَنۡهُمۡ لِيَبۡتَلِيَكُمۡۖ وَلَقَدۡ عَفَا عَنكُمۡۗ وَٱللَّهُ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

152. Mazima Katonda yatuukiriza gyemuli endagaanoye bwemwatuuka okubatirimbula olwokukkirizakwe, mpozzi bwemwatiitiira ne mukaayagana nga temukyakkaanya ku nsonga, ne mujeema (nemuva ku kasozi) bwemwalaba nti kyemwagala (ekyokuwangula omulabe) kyali kituukirira, mu mmwe mwalimu abaagala ebyokufuna bye nsi, nga bwemwalimu abagala enkomerero, oluvanyuma Katonda yaakyusa obwali obuwanguzi bwa mmwe ku bo (nebaba nga beebawangula) alyoke abe nga abagezesa ate mazima yabasonyiwa mmwe, bulijjo Katonda abakkiriza abagonnomolako ebirungi. info
التفاسير:

external-link copy
153 : 3

۞ إِذۡ تُصۡعِدُونَ وَلَا تَلۡوُۥنَ عَلَىٰٓ أَحَدٖ وَٱلرَّسُولُ يَدۡعُوكُمۡ فِيٓ أُخۡرَىٰكُمۡ فَأَثَٰبَكُمۡ غَمَّۢا بِغَمّٖ لِّكَيۡلَا تَحۡزَنُواْ عَلَىٰ مَا فَاتَكُمۡ وَلَا مَآ أَصَٰبَكُمۡۗ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ

153. Jjukira ekiseera wemwayambukira olusozi, olwonno nga temukyatunula ku muntu yenna. Nga omubaka mumulese mabega abakowoola, awo nno Katonda kwekubasasula okweraliikirira okwomuddinganwa mube nga temunakuwala olwebyo byemutaafuna, oba olwobuzibu obubatuseeko Katonda amanyidde ddala byonna byemukola. info
التفاسير: