ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
154 : 37

مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ

154. Mwabaaki mulamula mutya (ebintu)!. info
التفاسير:

external-link copy
155 : 37

أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

155. Abaffe temwebuulirira!. info
التفاسير:

external-link copy
156 : 37

أَمۡ لَكُمۡ سُلۡطَٰنٞ مُّبِينٞ

156. Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo). info
التفاسير:

external-link copy
157 : 37

فَأۡتُواْ بِكِتَٰبِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

157. Kale muleete ekiwandiiko kyammwe bwe muba ab'amazima. info
التفاسير:

external-link copy
158 : 37

وَجَعَلُواْ بَيۡنَهُۥ وَبَيۡنَ ٱلۡجِنَّةِ نَسَبٗاۚ وَلَقَدۡ عَلِمَتِ ٱلۡجِنَّةُ إِنَّهُمۡ لَمُحۡضَرُونَ

158. (Abatakkiriza) nebateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima ggo gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye). info
التفاسير:

external-link copy
159 : 37

سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ

159. Katonda musukkulumu ku bye boogera. info
التفاسير:

external-link copy
160 : 37

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

160. Wabula abaddu ba Katonda abalondobemu (anti bbo tebagwa mu kiti kyabo abamwogerako eby'ensimattu). info
التفاسير:

external-link copy
161 : 37

فَإِنَّكُمۡ وَمَا تَعۡبُدُونَ

161. Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza. info
التفاسير:

external-link copy
162 : 37

مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ بِفَٰتِنِينَ

162. Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumujjako abaddu be). info
التفاسير:

external-link copy
163 : 37

إِلَّا مَنۡ هُوَ صَالِ ٱلۡجَحِيمِ

163. Be ppo oyo y'ewokwesonseka omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza). info
التفاسير:

external-link copy
164 : 37

وَمَا مِنَّآ إِلَّا لَهُۥ مَقَامٞ مَّعۡلُومٞ

164. (Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
165 : 37

وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلصَّآفُّونَ

165. Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
166 : 37

وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡمُسَبِّحُونَ

166. Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
167 : 37

وَإِن كَانُواْ لَيَقُولُونَ

167. Newaakubadde nga (abakaafiiri) ddala bagamba nti. info
التفاسير:

external-link copy
168 : 37

لَوۡ أَنَّ عِندَنَا ذِكۡرٗا مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

168. Ddala singa twalina okujjukizibwa nga kuva eri abaasooka. info
التفاسير:

external-link copy
169 : 37

لَكُنَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

169. Twandibadde abaddu ba Katonda abalondobemu. info
التفاسير:

external-link copy
170 : 37

فَكَفَرُواْ بِهِۦۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

170. (Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya. info
التفاسير:

external-link copy
171 : 37

وَلَقَدۡ سَبَقَتۡ كَلِمَتُنَا لِعِبَادِنَا ٱلۡمُرۡسَلِينَ

171. Mazima kyakulembera ekigambo kyaffe eri abaddu baffe abaatumwa. info
التفاسير:

external-link copy
172 : 37

إِنَّهُمۡ لَهُمُ ٱلۡمَنصُورُونَ

172. Nti mazima bbo ddala be b'okutaasibwa. info
التفاسير:

external-link copy
173 : 37

وَإِنَّ جُندَنَا لَهُمُ ٱلۡغَٰلِبُونَ

173. Era mazima eggye lyaffe ddala bo be baba abawanguzi. info
التفاسير:

external-link copy
174 : 37

فَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ حِينٖ

174. Kale baveeko okutuusa ekiseera ekigere. info
التفاسير:

external-link copy
175 : 37

وَأَبۡصِرۡهُمۡ فَسَوۡفَ يُبۡصِرُونَ

175. Era batunuulire kyaddaaki baliraba. info
التفاسير:

external-link copy
176 : 37

أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ

176. Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu. info
التفاسير:

external-link copy
177 : 37

فَإِذَا نَزَلَ بِسَاحَتِهِمۡ فَسَآءَ صَبَاحُ ٱلۡمُنذَرِينَ

177. Lwe birituuka mu lujja lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (omuliro ne batawulira). info
التفاسير:

external-link copy
178 : 37

وَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ حِينٖ

178. Era baveeko okutuusa ekiseera ekigere. info
التفاسير:

external-link copy
179 : 37

وَأَبۡصِرۡ فَسَوۡفَ يُبۡصِرُونَ

179. Era tunula kyaddaaki baliraba. info
التفاسير:

external-link copy
180 : 37

سُبۡحَٰنَ رَبِّكَ رَبِّ ٱلۡعِزَّةِ عَمَّا يَصِفُونَ

180. Mukama omulabirizi wo, nannyini buyinza musukkulumu Ku ebyo bye boogera. info
التفاسير:

external-link copy
181 : 37

وَسَلَٰمٌ عَلَى ٱلۡمُرۡسَلِينَ

181. Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
182 : 37

وَٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

182. Era buli kitendo kya Mukama omulabirizi w'ebitonde. info
التفاسير: