ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
25 : 37

مَا لَكُمۡ لَا تَنَاصَرُونَ

25. (Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa!. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 37

بَلۡ هُمُ ٱلۡيَوۡمَ مُسۡتَسۡلِمُونَ

26. Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu). info
التفاسير:

external-link copy
27 : 37

وَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَسَآءَلُونَ

27. Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 37

قَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَأۡتُونَنَا عَنِ ٱلۡيَمِينِ

28. (Abagoberezi) ne bagamba (bebaagoberera) nti mazima mmwe mwalinga mutujjira nga mutuyita ku ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 37

قَالُواْ بَل لَّمۡ تَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ

29. (Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali bakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 37

وَمَا كَانَ لَنَا عَلَيۡكُم مِّن سُلۡطَٰنِۭۖ بَلۡ كُنتُمۡ قَوۡمٗا طَٰغِينَ

30. Era tetwabalinaako buyinza bwonna wabula mwali bantu abeewagguzi. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 37

فَحَقَّ عَلَيۡنَا قَوۡلُ رَبِّنَآۖ إِنَّا لَذَآئِقُونَ

31. Olwo nno ekigambo kya Mukama omulabirizi waffe nekitukakatako (fenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo). info
التفاسير:

external-link copy
32 : 37

فَأَغۡوَيۡنَٰكُمۡ إِنَّا كُنَّا غَٰوِينَ

32. Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 37

فَإِنَّهُمۡ يَوۡمَئِذٖ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ

33. Mazima bo (ab'emirundi ebiri) bagenda kwegatta mu kibonerezo. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 37

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ

34. Mazima ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 37

إِنَّهُمۡ كَانُوٓاْ إِذَا قِيلَ لَهُمۡ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱللَّهُ يَسۡتَكۡبِرُونَ

35. Mazima bo bwe baagambibwanga nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako Katonda baali nga beekuza. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 37

وَيَقُولُونَ أَئِنَّا لَتَارِكُوٓاْ ءَالِهَتِنَا لِشَاعِرٖ مَّجۡنُونِۭ

36. Nebagamba nti mazima ffe tuyinza okuleka ba katonda baffe ku lw'omuyimbi omulalu. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 37

بَلۡ جَآءَ بِٱلۡحَقِّ وَصَدَّقَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

37. Nedda (Nabbi Muhammad talinga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera). info
التفاسير:

external-link copy
38 : 37

إِنَّكُمۡ لَذَآئِقُواْ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَلِيمِ

38. Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebiruma ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 37

وَمَا تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

39. Era temugenda kusasulwa wabula ebyo bye mwakolanga. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 37

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

40. Okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 37

أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ رِزۡقٞ مَّعۡلُومٞ

41. Abo baliweebwa ebigabirirwa ebimanyiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 37

فَوَٰكِهُ وَهُم مُّكۡرَمُونَ

42. (Biriba) ebibala era nga nebaba nga bo bagabulwa. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 37

فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ

43. Nga bali mu jjana ez'ebyengera. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 37

عَلَىٰ سُرُرٖ مُّتَقَٰبِلِينَ

44. (Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 37

يُطَافُ عَلَيۡهِم بِكَأۡسٖ مِّن مَّعِينِۭ

45. Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyo'kunywa eziva mu nsulo ezitakalira. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 37

بَيۡضَآءَ لَذَّةٖ لِّلشَّٰرِبِينَ

46. (Eby'okunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 37

لَا فِيهَا غَوۡلٞ وَلَا هُمۡ عَنۡهَا يُنزَفُونَ

47. Tebigenda kubaamu kirumya mutwe era nga bwebatagenda kutamiira olw'okubinywa. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 37

وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ عِينٞ

48. Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 37

كَأَنَّهُنَّ بَيۡضٞ مَّكۡنُونٞ

49. Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 37

فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَسَآءَلُونَ

50. Olwo nno abamu neboolekera bannaabwe nga bawaanyisaganya ebigambo. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 37

قَالَ قَآئِلٞ مِّنۡهُمۡ إِنِّي كَانَ لِي قَرِينٞ

51. Omwogezi (omu) ku bo aligamba nti mazima nze nalina ow'omukwano. info
التفاسير: