ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
77 : 37

وَجَعَلۡنَا ذُرِّيَّتَهُۥ هُمُ ٱلۡبَاقِينَ

77. Netufuula ezzadde lye nebaba bo nga be basigaddewo. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 37

وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

78. Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 37

سَلَٰمٌ عَلَىٰ نُوحٖ فِي ٱلۡعَٰلَمِينَ

79. Emirembe gibeere ku Nuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 37

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

80. Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 37

إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

81. Mazima (Nuhu) ali mu baddu baffe abakkiriza aba nnamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 37

ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ

82. Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuhu). info
التفاسير:

external-link copy
83 : 37

۞ وَإِنَّ مِن شِيعَتِهِۦ لَإِبۡرَٰهِيمَ

83. Era mazima ddala Ibrahim ali ku nkolaye(Nuhu). info
التفاسير:

external-link copy
84 : 37

إِذۡ جَآءَ رَبَّهُۥ بِقَلۡبٖ سَلِيمٍ

84. Kubanga yajja ewa Mukama omulabiriziwe n’omutima omuyonjo. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 37

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَاذَا تَعۡبُدُونَ

85. Bwe yagamba kitaawe n’abantu be nti biki bye musinza. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 37

أَئِفۡكًا ءَالِهَةٗ دُونَ ٱللَّهِ تُرِيدُونَ

86. Ba katonda abajingirire bemwagala nemuleka Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 37

فَمَا ظَنُّكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

87. Olwo Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna, ki kye mumulowoozaako?. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 37

فَنَظَرَ نَظۡرَةٗ فِي ٱلنُّجُومِ

88. Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali). info
التفاسير:

external-link copy
89 : 37

فَقَالَ إِنِّي سَقِيمٞ

89. (Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde. info
التفاسير:

external-link copy
90 : 37

فَتَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ مُدۡبِرِينَ

90. Olwo nebamuvaako nebamulekawo. info
التفاسير:

external-link copy
91 : 37

فَرَاغَ إِلَىٰٓ ءَالِهَتِهِمۡ فَقَالَ أَلَا تَأۡكُلُونَ

91. Olwo nadda ku ba katonda baabwe naalyoka abagamba nti lwaki temulya?. info
التفاسير:

external-link copy
92 : 37

مَا لَكُمۡ لَا تَنطِقُونَ

92. Mwabaaki, nga temwogera!. info
التفاسير:

external-link copy
93 : 37

فَرَاغَ عَلَيۡهِمۡ ضَرۡبَۢا بِٱلۡيَمِينِ

93. Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwa ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
94 : 37

فَأَقۡبَلُوٓاْ إِلَيۡهِ يَزِفُّونَ

94. Olwo (abantu ba Ibrahim bwe baamanya kyakoze) bajja gyali nga banguwa. info
التفاسير:

external-link copy
95 : 37

قَالَ أَتَعۡبُدُونَ مَا تَنۡحِتُونَ

95. (Ibrahim) naagamba nti, musinza ebyo bye mubajja!. info
التفاسير:

external-link copy
96 : 37

وَٱللَّهُ خَلَقَكُمۡ وَمَا تَعۡمَلُونَ

96. So nga Katonda yeeyabatonda mmwe n'ebyo bye mukola. info
التفاسير:

external-link copy
97 : 37

قَالُواْ ٱبۡنُواْ لَهُۥ بُنۡيَٰنٗا فَأَلۡقُوهُ فِي ٱلۡجَحِيمِ

97. Nebagamba nti mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabeengeya w’omuliro. info
التفاسير:

external-link copy
98 : 37

فَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَسۡفَلِينَ

98. Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe). info
التفاسير:

external-link copy
99 : 37

وَقَالَ إِنِّي ذَاهِبٌ إِلَىٰ رَبِّي سَيَهۡدِينِ

99. (Awo Ibrahim naasalawo okusenguka) era naagamba nti mazima nze ngenda ewa Mukama omulabirizi wange ajja kunnungamya. info
التفاسير:

external-link copy
100 : 37

رَبِّ هَبۡ لِي مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ

100. Ayi Mukama omulabirizi wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu. info
التفاسير:

external-link copy
101 : 37

فَبَشَّرۡنَٰهُ بِغُلَٰمٍ حَلِيمٖ

101. Olwo netumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa. info
التفاسير:

external-link copy
102 : 37

فَلَمَّا بَلَغَ مَعَهُ ٱلسَّعۡيَ قَالَ يَٰبُنَيَّ إِنِّيٓ أَرَىٰ فِي ٱلۡمَنَامِ أَنِّيٓ أَذۡبَحُكَ فَٱنظُرۡ مَاذَا تَرَىٰۚ قَالَ يَٰٓأَبَتِ ٱفۡعَلۡ مَا تُؤۡمَرُۖ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلصَّٰبِرِينَ

102. Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibrahim) naagamba nti owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) naagamba nti owange taata kola ekyo kyolagirwa, Katonda nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza. info
التفاسير: