ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
127 : 37

فَكَذَّبُوهُ فَإِنَّهُمۡ لَمُحۡضَرُونَ

127. Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye). info
التفاسير:

external-link copy
128 : 37

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

128. Okugyako abaddu ba Katonda abalondemu. info
التفاسير:

external-link copy
129 : 37

وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

129. Era twamulekera okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma. info
التفاسير:

external-link copy
130 : 37

سَلَٰمٌ عَلَىٰٓ إِلۡ يَاسِينَ

130. Emirembe gibe ku bantu ba Elias. info
التفاسير:

external-link copy
131 : 37

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

131. Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa. info
التفاسير:

external-link copy
132 : 37

إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

132. Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza abannamaddala. info
التفاسير:

external-link copy
133 : 37

وَإِنَّ لُوطٗا لَّمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

133. Era mazima Luutu wa mu babaka. info
التفاسير:

external-link copy
134 : 37

إِذۡ نَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ

134. (Jjukira) bwe twamuwonya n’abantube bonna. info
التفاسير:

external-link copy
135 : 37

إِلَّا عَجُوزٗا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ

135. Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala. info
التفاسير:

external-link copy
136 : 37

ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ

136. Oluvanyuma twazikiriza abaasigala. info
التفاسير:

external-link copy
137 : 37

وَإِنَّكُمۡ لَتَمُرُّونَ عَلَيۡهِم مُّصۡبِحِينَ

137. Era mazima mmwe mubayitako (muyita ku matongo gaabwe) ku makya. info
التفاسير:

external-link copy
138 : 37

وَبِٱلَّيۡلِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ

138. N'ekiro abaffe temutegeera!. info
التفاسير:

external-link copy
139 : 37

وَإِنَّ يُونُسَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

139. Era mazima Yunus wa mu babaka. info
التفاسير:

external-link copy
140 : 37

إِذۡ أَبَقَ إِلَى ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ

140. Jjukira (bwe yasuulawo omulimu Katonda gwe yamukwasa) naalinnya eryato eryali limaze okutikka. info
التفاسير:

external-link copy
141 : 37

فَسَاهَمَ فَكَانَ مِنَ ٱلۡمُدۡحَضِينَ

141. (Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunus) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja). info
التفاسير:

external-link copy
142 : 37

فَٱلۡتَقَمَهُ ٱلۡحُوتُ وَهُوَ مُلِيمٞ

142. Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa. info
التفاسير:

external-link copy
143 : 37

فَلَوۡلَآ أَنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُسَبِّحِينَ

143. Singa mazima ddala teyali mu batendereza (Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
144 : 37

لَلَبِثَ فِي بَطۡنِهِۦٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

144. Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
145 : 37

۞ فَنَبَذۡنَٰهُ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ سَقِيمٞ

145. Wabula twamukasuka ku lukalu naye nga yali mulwadde. info
التفاسير:

external-link copy
146 : 37

وَأَنۢبَتۡنَا عَلَيۡهِ شَجَرَةٗ مِّن يَقۡطِينٖ

146. Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera). info
التفاسير:

external-link copy
147 : 37

وَأَرۡسَلۡنَٰهُ إِلَىٰ مِاْئَةِ أَلۡفٍ أَوۡ يَزِيدُونَ

147. Era twamutuma eri abantu emitwalo kkumi oba okusingawo. info
التفاسير:

external-link copy
148 : 37

فَـَٔامَنُواْ فَمَتَّعۡنَٰهُمۡ إِلَىٰ حِينٖ

148. Bakkiriza, olwo nno netubeeyagaza okutuuka ebbanga eggere. info
التفاسير:

external-link copy
149 : 37

فَٱسۡتَفۡتِهِمۡ أَلِرَبِّكَ ٱلۡبَنَاتُ وَلَهُمُ ٱلۡبَنُونَ

149. Kaakano ggwe babuuze (aba Kuraish) nti Mukama omulabiriziwo y'aba n'abawala bo nebaba n’abalenzi!. info
التفاسير:

external-link copy
150 : 37

أَمۡ خَلَقۡنَا ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ إِنَٰثٗا وَهُمۡ شَٰهِدُونَ

150. Oba abaffe bo baaliwo nga tutonda ba Malayika nga bakazi. info
التفاسير:

external-link copy
151 : 37

أَلَآ إِنَّهُم مِّنۡ إِفۡكِهِمۡ لَيَقُولُونَ

151. Abange mazima mu kutemerera kwabwe batuuka n'okugamba nti. info
التفاسير:

external-link copy
152 : 37

وَلَدَ ٱللَّهُ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ

152. Katonda yazaala nga ate ddala bo balimba. info
التفاسير:

external-link copy
153 : 37

أَصۡطَفَى ٱلۡبَنَاتِ عَلَى ٱلۡبَنِينَ

153. (Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi!. info
التفاسير: