Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

Page Number:close

external-link copy
75 : 23

۞ وَلَوۡ رَحِمۡنَٰهُمۡ وَكَشَفۡنَا مَا بِهِم مِّن ضُرّٖ لَّلَجُّواْ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ

75 . Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta. info
التفاسير:

external-link copy
76 : 23

وَلَقَدۡ أَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ فَمَا ٱسۡتَكَانُواْ لِرَبِّهِمۡ وَمَا يَتَضَرَّعُونَ

76 . Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda. info
التفاسير:

external-link copy
77 : 23

حَتَّىٰٓ إِذَا فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابٗا ذَا عَذَابٖ شَدِيدٍ إِذَا هُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ

77 . Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 23

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ

78 . (Katonda) yye, yooyo eyabatondera mmwe amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 23

وَهُوَ ٱلَّذِي ذَرَأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ

79 . Era yye yooyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gyali gye mulikungaanyizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 23

وَهُوَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ وَلَهُ ٱخۡتِلَٰفُ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ

80 . Era yye yooyo awa obulamu era natta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera!. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 23

بَلۡ قَالُواْ مِثۡلَ مَا قَالَ ٱلۡأَوَّلُونَ

81 . Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 23

قَالُوٓاْ أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

82 . Bagamba nti bwe tulifa ne tuba e nfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 23

لَقَدۡ وُعِدۡنَا نَحۡنُ وَءَابَآؤُنَا هَٰذَا مِن قَبۡلُ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

83 . Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okugyako okuba enfumo z'abasooka. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 23

قُل لِّمَنِ ٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهَآ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

84 . Bagambe nti: ensi n'ebigirimu byani bwe muba nga mumanyi?. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 23

سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

85 . Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temwebuulirira!. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 23

قُلۡ مَن رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ ٱلسَّبۡعِ وَرَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ

86 . Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa?. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 23

سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ أَفَلَا تَتَّقُونَ

87 . Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temutya!. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 23

قُلۡ مَنۢ بِيَدِهِۦ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيۡءٖ وَهُوَ يُجِيرُ وَلَا يُجَارُ عَلَيۡهِ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

88 . Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi. info
التفاسير:

external-link copy
89 : 23

سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ فَأَنَّىٰ تُسۡحَرُونَ

89 . Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Katonda, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya!. info
التفاسير: