Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

Page Number:close

external-link copy
43 : 23

مَا تَسۡبِقُ مِنۡ أُمَّةٍ أَجَلَهَا وَمَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ

43 . Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna). info
التفاسير:

external-link copy
44 : 23

ثُمَّ أَرۡسَلۡنَا رُسُلَنَا تَتۡرَاۖ كُلَّ مَا جَآءَ أُمَّةٗ رَّسُولُهَا كَذَّبُوهُۖ فَأَتۡبَعۡنَا بَعۡضَهُم بَعۡضٗا وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَۚ فَبُعۡدٗا لِّقَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ

44 . Oluvanyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 23

ثُمَّ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ وَأَخَاهُ هَٰرُونَ بِـَٔايَٰتِنَا وَسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ

45 . Oluvanyuma twatuma Musa ne Mugandawe Haruna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 23

إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ وَكَانُواْ قَوۡمًا عَالِينَ

46 . Bagende ewa Firaawo n'abakungube (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba aba waggulu. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 23

فَقَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لِبَشَرَيۡنِ مِثۡلِنَا وَقَوۡمُهُمَا لَنَا عَٰبِدُونَ

47 . Nebagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe batusinza businza!. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 23

فَكَذَّبُوهُمَا فَكَانُواْ مِنَ ٱلۡمُهۡلَكِينَ

48 . Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 23

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ لَعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ

49 . Era mazima twawa Musa ekitabo babe nga balungama. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 23

وَجَعَلۡنَا ٱبۡنَ مَرۡيَمَ وَأُمَّهُۥٓ ءَايَةٗ وَءَاوَيۡنَٰهُمَآ إِلَىٰ رَبۡوَةٖ ذَاتِ قَرَارٖ وَمَعِينٖ

50 . Twafuula Mutabani wa Mariam ne Maamawe akabonero, ne tubawa obutuulo mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 23

يَٰٓأَيُّهَا ٱلرُّسُلُ كُلُواْ مِنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَٱعۡمَلُواْ صَٰلِحًاۖ إِنِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ

51 . Abange mmwe ababaka mulye ebikkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima nze manyidde ddala ebyo bye mukola. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 23

وَإِنَّ هَٰذِهِۦٓ أُمَّتُكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَأَنَا۠ رَبُّكُمۡ فَٱتَّقُونِ

52 . Mazima ddala e kibiina kya mmwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale muntye. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 23

فَتَقَطَّعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ زُبُرٗاۖ كُلُّ حِزۡبِۭ بِمَا لَدَيۡهِمۡ فَرِحُونَ

53 . Naye abantu beekutulamu wakati waabwe ku kigambo kyaabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 23

فَذَرۡهُمۡ فِي غَمۡرَتِهِمۡ حَتَّىٰ حِينٍ

54 . Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa). info
التفاسير:

external-link copy
55 : 23

أَيَحۡسَبُونَ أَنَّمَا نُمِدُّهُم بِهِۦ مِن مَّالٖ وَبَنِينَ

55 . Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 23

نُسَارِعُ لَهُمۡ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِۚ بَل لَّا يَشۡعُرُونَ

56 . Tuba tubanguyiza kwe yongera kufuna birungi! wabula tebategeera. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 23

إِنَّ ٱلَّذِينَ هُم مِّنۡ خَشۡيَةِ رَبِّهِم مُّشۡفِقُونَ

57 . Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama omulabirizi waabwe. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 23

وَٱلَّذِينَ هُم بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ يُؤۡمِنُونَ

58 . Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe babikkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 23

وَٱلَّذِينَ هُم بِرَبِّهِمۡ لَا يُشۡرِكُونَ

59 . Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama omulabirizi wa bwe. info
التفاسير: