Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

Page Number:close

external-link copy
18 : 23

وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٖ فَأَسۡكَنَّٰهُ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَإِنَّا عَلَىٰ ذَهَابِۭ بِهِۦ لَقَٰدِرُونَ

18 . Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 23

فَأَنشَأۡنَا لَكُم بِهِۦ جَنَّٰتٖ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَٰبٖ لَّكُمۡ فِيهَا فَوَٰكِهُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

19 . Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 23

وَشَجَرَةٗ تَخۡرُجُ مِن طُورِ سَيۡنَآءَ تَنۢبُتُ بِٱلدُّهۡنِ وَصِبۡغٖ لِّلۡأٓكِلِينَ

20 . Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 23

وَإِنَّ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَنۡعَٰمِ لَعِبۡرَةٗۖ نُّسۡقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهَا وَلَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

21 . Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 23

وَعَلَيۡهَا وَعَلَى ٱلۡفُلۡكِ تُحۡمَلُونَ

22 . Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 23

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ

23 . Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)!. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 23

فَقَالَ ٱلۡمَلَؤُاْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُرِيدُ أَن يَتَفَضَّلَ عَلَيۡكُمۡ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَأَنزَلَ مَلَٰٓئِكَةٗ مَّا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ

24 . Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 23

إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلُۢ بِهِۦ جِنَّةٞ فَتَرَبَّصُواْ بِهِۦ حَتَّىٰ حِينٖ

25 . Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa). info
التفاسير:

external-link copy
26 : 23

قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي بِمَا كَذَّبُونِ

26 . (Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe). info
التفاسير:

external-link copy
27 : 23

فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِ أَنِ ٱصۡنَعِ ٱلۡفُلۡكَ بِأَعۡيُنِنَا وَوَحۡيِنَا فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُنَا وَفَارَ ٱلتَّنُّورُ فَٱسۡلُكۡ فِيهَا مِن كُلّٖ زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَأَهۡلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيۡهِ ٱلۡقَوۡلُ مِنۡهُمۡۖ وَلَا تُخَٰطِبۡنِي فِي ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِنَّهُم مُّغۡرَقُونَ

27 . Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira. info
التفاسير: