42 . (Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.
43 . Ebigambo byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okugyako musajja ayagala okubajja ku ebyo bakadde ba mmwe bye baali basinza, era nebagamba nti (Kur’ani jazze nayo) eno teri okugyako bulimba obujingirire ate bo abaakaafuwala amazima bwe gamala okubajjira bagamba nti tebiri bino okugyako ddogo ery'olwatu.
47 . Bagambe nti ssibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo ya mmwe, empeera eyange teri okugyako ku Katonda yekka. Era yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa.