15 . Mazima abantu be Saba-i mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (nakyo baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (netubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda mulabirizi musonyiyi.
18 . Netussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu netukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe.
21 . Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu.
22 . Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Katonda, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala.