8 . Abaffe (okwogera bwatyo) atemeredde bulimba ku Katonda oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala.
12 . Ate Sulaiman twamugondeza empewo nga ekitundu kyetambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu kyetambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali mu buyinza bwe agamukolera byonna ku lw'ekiragiro kya Mukama Omulabiriziwe, ejinni lyonna eribula neriva ku kiragiro kyaffe tulikombesa ku bibonerezo ebyo muliro Sa-iri.