Қуръони Карим маъноларининг таржимаси - Лугандача таржима - Африка тараққиёт муассасаси

Бет рақами:close

external-link copy
77 : 27

وَإِنَّهُۥ لَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ

77 . Era mazima yyo bulungamu na kusaasira eri abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
78 : 27

إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُم بِحُكۡمِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ

78 . Era Mukama omulabiriziwo alitaawulula wakati wa bwe nga abalamula, era yye ye nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 27

فَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۖ إِنَّكَ عَلَى ٱلۡحَقِّ ٱلۡمُبِينِ

79 . N'olwekyo (ggwe Muhammad) weekwate ku Katonda, mazima ggwe oli ku mazima ameeyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 27

إِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ

80 . (Awamu n'ekyo) mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola, kasita bakyuka nebakubayo amabega. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 27

وَمَآ أَنتَ بِهَٰدِي ٱلۡعُمۡيِ عَن ضَلَٰلَتِهِمۡۖ إِن تُسۡمِعُ إِلَّا مَن يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُم مُّسۡلِمُونَ

81 . Era ggwe tosobola kulungamya ba muzibe noobaggya ku bubuze bwa bwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe era abo be beewaayo ewa Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 27

۞ وَإِذَا وَقَعَ ٱلۡقَوۡلُ عَلَيۡهِمۡ أَخۡرَجۡنَا لَهُمۡ دَآبَّةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ تُكَلِّمُهُمۡ أَنَّ ٱلنَّاسَ كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا لَا يُوقِنُونَ

82 . Ekigambo bwe kiribagwaako tugenda kubaggyirayo ensolo okuva mu ttaka eyogere nabo, anti mazima abantu baali tebakakasa bigambo byaffe. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 27

وَيَوۡمَ نَحۡشُرُ مِن كُلِّ أُمَّةٖ فَوۡجٗا مِّمَّن يُكَذِّبُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُمۡ يُوزَعُونَ

83 . Era babuulire olunaku lwe tulikungaanya mu buli kibiina kya bantu akabinja mu abo abalimbisa ebigambo byaffe, nabo nno nga bawalulwa mu miteeko. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 27

حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُو قَالَ أَكَذَّبۡتُم بِـَٔايَٰتِي وَلَمۡ تُحِيطُواْ بِهَا عِلۡمًا أَمَّاذَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

84 . Okutuusa nga bazze (mu maaso ga Katonda) aligamba nti: mwalimbisa ebigambo byange so ng'ate temwabimanya mu bujjuvu bwabyo, kaakati mwakoleranga kuki?. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 27

وَوَقَعَ ٱلۡقَوۡلُ عَلَيۡهِم بِمَا ظَلَمُواْ فَهُمۡ لَا يَنطِقُونَ

85 . Olwo ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kibakakataako (olw'ebyo bye beeyisaamu obubi ne kiba nti tebagenda kwatula. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 27

أَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ لِيَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

86 . Abaffe tebalaba nti mazima ffe twateekawo ekiro babe nga bakiwummuliramu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala (babe nga bakoleramu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu o bubonero eri abantu abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 27

وَيَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِ فَفَزِعَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۚ وَكُلٌّ أَتَوۡهُ دَٰخِرِينَ

87 . Era (babuulire) olunaku engombe lwe lifuuyibwa, alitya oyo yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi okugyako oyo Katonda gwaliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomwa. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 27

وَتَرَى ٱلۡجِبَالَ تَحۡسَبُهَا جَامِدَةٗ وَهِيَ تَمُرُّ مَرَّ ٱلسَّحَابِۚ صُنۡعَ ٱللَّهِ ٱلَّذِيٓ أَتۡقَنَ كُلَّ شَيۡءٍۚ إِنَّهُۥ خَبِيرُۢ بِمَا تَفۡعَلُونَ

88 . Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde ziriba zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Katonda oyo eyakola buli kintu mu nkola e singa okuba eya waggulu, mazima yye amanyidde ddala ebyo bye mukola. info
التفاسير: