Қуръони Карим маъноларининг таржимаси - Лугандача таржима - Африка тараққиёт муассасаси

Бет рақами:close

external-link copy
23 : 27

إِنِّي وَجَدتُّ ٱمۡرَأَةٗ تَمۡلِكُهُمۡ وَأُوتِيَتۡ مِن كُلِّ شَيۡءٖ وَلَهَا عَرۡشٌ عَظِيمٞ

23 . Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 27

وَجَدتُّهَا وَقَوۡمَهَا يَسۡجُدُونَ لِلشَّمۡسِ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَصَدَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ فَهُمۡ لَا يَهۡتَدُونَ

24 . Namusanze (yye) n'abantube nga bavunnamira enjuba nebava ku Katonda, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe, olwo nno n'ebagya ku kkubo n'olwekyo bo tebagenda kulungama. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 27

أَلَّاۤ يَسۡجُدُواْۤ لِلَّهِ ٱلَّذِي يُخۡرِجُ ٱلۡخَبۡءَ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَيَعۡلَمُ مَا تُخۡفُونَ وَمَا تُعۡلِنُونَ

25 . Nebatavunnamira Katonda oyo agyayo ebyekwese mu ggulu omusanvu ne mu nsi era amanyi ebyo bye mukweka ne bye mwolesa. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 27

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ۩

26 . Katonda, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 27

۞ قَالَ سَنَنظُرُ أَصَدَقۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ

27 . (Sulaiman) naagamba nti tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 27

ٱذۡهَب بِّكِتَٰبِي هَٰذَا فَأَلۡقِهۡ إِلَيۡهِمۡ ثُمَّ تَوَلَّ عَنۡهُمۡ فَٱنظُرۡ مَاذَا يَرۡجِعُونَ

28 . Twala ebbaluwa yange eno ogibawe, bwomala baweemu akabanga olabe ki kye baddamu. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 27

قَالَتۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ إِنِّيٓ أُلۡقِيَ إِلَيَّ كِتَٰبٞ كَرِيمٌ

29 . (Balikiisi) bwe yafuna ebbaluwa naagamba nti abange mmwe abakungu, mazima nze mpeereddwa ebbaluwa ey'ekitiibwa. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 27

إِنَّهُۥ مِن سُلَيۡمَٰنَ وَإِنَّهُۥ بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

30 . Mazima yyo eva wa Sulaiman era esoma nti ku lw'elinnya lya Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi omusaasizi ow'ekisa eky'enjawulo. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 27

أَلَّا تَعۡلُواْ عَلَيَّ وَأۡتُونِي مُسۡلِمِينَ

31 . Temunneekuluntalizaako mujje gyendi nga mukkirizza okugondera Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 27

قَالَتۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ أَفۡتُونِي فِيٓ أَمۡرِي مَا كُنتُ قَاطِعَةً أَمۡرًا حَتَّىٰ تَشۡهَدُونِ

32 . (Balikisi) naagamba nti abange mmwe abakungu mumpe ebirowoozo ku nsonga yange eno, sisobola kusalawo nsonga okutuusa lwe mujja gyendi (ne tukyogerako). info
التفاسير:

external-link copy
33 : 27

قَالُواْ نَحۡنُ أُوْلُواْ قُوَّةٖ وَأُوْلُواْ بَأۡسٖ شَدِيدٖ وَٱلۡأَمۡرُ إِلَيۡكِ فَٱنظُرِي مَاذَا تَأۡمُرِينَ

33 . Nebagamba nti: ffe tuli b'amaanyi ddala era ffe mu kulwana tuli bayitirivu, naye bbwo obuyinza buli gyoli, laba ki kyolagira. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 27

قَالَتۡ إِنَّ ٱلۡمُلُوكَ إِذَا دَخَلُواْ قَرۡيَةً أَفۡسَدُوهَا وَجَعَلُوٓاْ أَعِزَّةَ أَهۡلِهَآ أَذِلَّةٗۚ وَكَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ

34 . (Balikisi) naagamba nti: mazima abafuzi bwe bayingira e kitundu (nga bakiwangudde buwanguzi) bakyonoona ne bafuula abantu ab'ekitiibwa mu kyo abanyoomebwa era bwe batyo bwe bakola. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 27

وَإِنِّي مُرۡسِلَةٌ إِلَيۡهِم بِهَدِيَّةٖ فَنَاظِرَةُۢ بِمَ يَرۡجِعُ ٱلۡمُرۡسَلُونَ

35 . Era mazima nze ngenda kubaweereza ebirabo olwo nno ninde bentumye badda na ki?. info
التفاسير: