Kur'an-ı Kerim meal tercümesi - Lugandaca Tercüme - Afrika Kalkındırma Müessesesi

Sayfa numarası: 5:2 close

external-link copy
30 : 2

وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي جَاعِلٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ خَلِيفَةٗۖ قَالُوٓاْ أَتَجۡعَلُ فِيهَا مَن يُفۡسِدُ فِيهَا وَيَسۡفِكُ ٱلدِّمَآءَ وَنَحۡنُ نُسَبِّحُ بِحَمۡدِكَ وَنُقَدِّسُ لَكَۖ قَالَ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ

30. Jjukira Mukama (Katonda) wo bwe yagamba ba malayika nti mazima nja kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, ng'ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! Katonda (naddamu) n’abagamba nti nze mmanyi ebyo byemutamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 2

وَعَلَّمَ ءَادَمَ ٱلۡأَسۡمَآءَ كُلَّهَا ثُمَّ عَرَضَهُمۡ عَلَى ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ فَقَالَ أَنۢبِـُٔونِي بِأَسۡمَآءِ هَٰٓؤُلَآءِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

31. (Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga ba Malayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (Nti mwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
32 : 2

قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ لَا عِلۡمَ لَنَآ إِلَّا مَا عَلَّمۡتَنَآۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ

32. Nebagamba nga batendereza nti; oli wanjawulo, ffe tetulina kyetumanyi okugyako ekyo kyoba otuyigirizza. Mazima ggwe muyitirivu w'okumanya omuyitirivu wa magezi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 2

قَالَ يَٰٓـَٔادَمُ أَنۢبِئۡهُم بِأَسۡمَآئِهِمۡۖ فَلَمَّآ أَنۢبَأَهُم بِأَسۡمَآئِهِمۡ قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ غَيۡبَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَأَعۡلَمُ مَا تُبۡدُونَ وَمَا كُنتُمۡ تَكۡتُمُونَ

33. Katonda naagamba nti; kale Adamu babuulire amannya gaabyo. Bwe yamaliriza okubattottolera amannya gaabyo, Katonda kwe kubagamba nti, saabagambye nti mazima nze mmanyi ebikusike mu nsi ne mu ggulu, era nga mmanyi bye mwolesa n'ebyo bye mukweka. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 2

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ وَٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

34. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti; muvunnamire Adamu. bonna ne bavunnama okugyako Ibliisu, yagaana ne yeekuluntaza n'abeera mu bawakanya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 2

وَقُلۡنَا يَٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ وَكُلَا مِنۡهَا رَغَدًا حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ

35. Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 2

فَأَزَلَّهُمَا ٱلشَّيۡطَٰنُ عَنۡهَا فَأَخۡرَجَهُمَا مِمَّا كَانَا فِيهِۖ وَقُلۡنَا ٱهۡبِطُواْ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ وَلَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُسۡتَقَرّٞ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ

36. Sitaani n'abaseereza okuva mu jjana era naabaggya mu (birungi) bye baalimu. Netubagamba nti mukke wansi nga buli omu mulabe eri munne, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira e bbanga eggere. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 2

فَتَلَقَّىٰٓ ءَادَمُ مِن رَّبِّهِۦ كَلِمَٰتٖ فَتَابَ عَلَيۡهِۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ

37. Oluvanyuma Adamu yayiga ebigambo by'okusaba okuva eri Katonda omulezi we (nga yeenenya), era Katonda nakkiriza okwenenya kwe. Mazima yye (Katonda) yakkiriza okwenenya, omusaasizi owookusaasira okwenjawulo. info
التفاسير: