Kur'an-ı Kerim meal tercümesi - Lugandaca Tercüme - Afrika Kalkındırma Müessesesi

Sayfa numarası:close

external-link copy
120 : 2

وَلَن تَرۡضَىٰ عَنكَ ٱلۡيَهُودُ وَلَا ٱلنَّصَٰرَىٰ حَتَّىٰ تَتَّبِعَ مِلَّتَهُمۡۗ قُلۡ إِنَّ هُدَى ٱللَّهِ هُوَ ٱلۡهُدَىٰۗ وَلَئِنِ ٱتَّبَعۡتَ أَهۡوَآءَهُم بَعۡدَ ٱلَّذِي جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَكَ مِنَ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٍ

120. Abayudaaya yadde abakulisitaayo tebagenda kukusiima okugyako nga ogoberedde enzikiriza yaabwe, bagambe nti mazima okulungamya kwa Katonda bwe bulungamu obwannamaddala. Singa onoogoberera bo bye baagala oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, togenda kufuna gweweesigamirako wadde omutaasa. info
التفاسير:

external-link copy
121 : 2

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَتۡلُونَهُۥ حَقَّ تِلَاوَتِهِۦٓ أُوْلَٰٓئِكَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۗ وَمَن يَكۡفُرۡ بِهِۦ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ

121. Abo betwawa ekitabo ne bakisoma mu utuufu bw'okukisoma, bo bakikkiriza, wabula abo abakiwakanya abo nno be 'okufaafaaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
122 : 2

يَٰبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتِيَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتُ عَلَيۡكُمۡ وَأَنِّي فَضَّلۡتُكُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ

122. Abange mmwe abaana ba Isirayiri, mujjukire ekyengera kyange kyennabawa era mazima ddala nabasukkulumya ku bantu abalala. info
التفاسير:

external-link copy
123 : 2

وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا لَّا تَجۡزِي نَفۡسٌ عَن نَّفۡسٖ شَيۡـٔٗا وَلَا يُقۡبَلُ مِنۡهَا عَدۡلٞ وَلَا تَنفَعُهَا شَفَٰعَةٞ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ

123. Era mutye n'olunaku omuntu lw'ataligasa muntu munne mu kintu kyonna, n' ennunuzi y'omuntu bw'eterikkirizibwa, wadde tewaliba kuwolereza kumugasa. Era nga tebagenda kutaasibwa. info
التفاسير:

external-link copy
124 : 2

۞ وَإِذِ ٱبۡتَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِـۧمَ رَبُّهُۥ بِكَلِمَٰتٖ فَأَتَمَّهُنَّۖ قَالَ إِنِّي جَاعِلُكَ لِلنَّاسِ إِمَامٗاۖ قَالَ وَمِن ذُرِّيَّتِيۖ قَالَ لَا يَنَالُ عَهۡدِي ٱلظَّٰلِمِينَ

124. Jjukira mu kiseera awo Katonda weyagezesa Ibrahim n'ebiragiro (Ibrahim) n'abituukiriza, (Katonda) n'amugamba nti mazima nkufudde omukulembeze w'abantu. (Ibrahim) naagamba nti; nsaba ne mu zzadde lyange muveemu abakulembeze. (Katonda) n'amugamba nti endagaano yange tetwaliramu balyazamaanyi. info
التفاسير:

external-link copy
125 : 2

وَإِذۡ جَعَلۡنَا ٱلۡبَيۡتَ مَثَابَةٗ لِّلنَّاسِ وَأَمۡنٗا وَٱتَّخِذُواْ مِن مَّقَامِ إِبۡرَٰهِـۧمَ مُصَلّٗىۖ وَعَهِدۡنَآ إِلَىٰٓ إِبۡرَٰهِـۧمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ أَن طَهِّرَا بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡعَٰكِفِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ

125. Era jjukira ekiseera lwetwafuula e nyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'emirembe, era netubalagira nti; ekifo kya Ibrahim mu kifuule awasaalirwa. Era twalagira Ibrahim ne Ismail nti mube nga mutukuza e nyumba yange ku lw'abo abagyetooloola n'abagituulamu, n'abo abakutama ne bavunnama. info
التفاسير:

external-link copy
126 : 2

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ ٱجۡعَلۡ هَٰذَا بَلَدًا ءَامِنٗا وَٱرۡزُقۡ أَهۡلَهُۥ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ مَنۡ ءَامَنَ مِنۡهُم بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ قَالَ وَمَن كَفَرَ فَأُمَتِّعُهُۥ قَلِيلٗا ثُمَّ أَضۡطَرُّهُۥٓ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلنَّارِۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ

126. Era Jjukira ekiseera Ibrahim bweyagamba nti; ayi mukama omulezi wange (Katonda) ekibuga kino kifuule kya mirembe era ogabirire abantu baamu ebibala, buli anakkirizanga Katonda n'olunaku lw'enkomerero. (Katonda) naagamba nti n'aliba takkiriza (ηŋenda kumugabiriranga) mulindirizeeko akaseera katono oluvanyuma ηŋenda kumuzza eri ebibonerezo by'omuliro. Obwo nno buddo bubi ddala. info
التفاسير: