แปล​ความหมาย​อัลกุรอาน​ - คำแปลภาษาลูกันดา - โดยมูลนิธิแอฟริกาเพื่อการพัฒนา

Al-Fajr

external-link copy
1 : 89

وَٱلۡفَجۡرِ

1. Ndayira e mambya. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 89

وَلَيَالٍ عَشۡرٖ

2. N’ebiro e kkumi. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 89

وَٱلشَّفۡعِ وَٱلۡوَتۡرِ

3. N’ebibiri bibiri n’ebyensusuuba. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 89

وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَسۡرِ

4. N’ekiro bwekiba nga kitambula (nga kijja oba nga kivaawo). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 89

هَلۡ فِي ذَٰلِكَ قَسَمٞ لِّذِي حِجۡرٍ

5. Abaffe mu kulayira kuno temuliimu kwebuulirira eri oyo alina amagezi. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 89

أَلَمۡ تَرَ كَيۡفَ فَعَلَ رَبُّكَ بِعَادٍ

6. Tewamanya ebyo Omuleziwo (Katonda) bye yatuusa ku bantu b'ekika kya A'adi. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 89

إِرَمَ ذَاتِ ٱلۡعِمَادِ

7. Aba-Irama abawagguufu. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 89

ٱلَّتِي لَمۡ يُخۡلَقۡ مِثۡلُهَا فِي ٱلۡبِلَٰدِ

8. Tewatondebwangayo babafaanana mu nsi. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 89

وَثَمُودَ ٱلَّذِينَ جَابُواْ ٱلصَّخۡرَ بِٱلۡوَادِ

9. N’ebyo bye yatuusa ku ba Thamuud abaawukuulanga e njazi mu lusenyi. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 89

وَفِرۡعَوۡنَ ذِي ٱلۡأَوۡتَادِ

10. N'ebyo bye yatuusa ku Firaawo nannyini nkondo. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 89

ٱلَّذِينَ طَغَوۡاْ فِي ٱلۡبِلَٰدِ

11. Abo bonna (aboogeddwako) beewaggula kuno ku nsi. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 89

فَأَكۡثَرُواْ فِيهَا ٱلۡفَسَادَ

12. Ne bayitiriza nnyo obwonoonefu. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 89

فَصَبَّ عَلَيۡهِمۡ رَبُّكَ سَوۡطَ عَذَابٍ

13. Omuleziwo (Katonda) kye yava abafukirira e bibonerezo e by'enjawulo. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 89

إِنَّ رَبَّكَ لَبِٱلۡمِرۡصَادِ

14. Mazima ddala Omuleziwo (Katonda) abalindiridde. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 89

فَأَمَّا ٱلۡإِنسَٰنُ إِذَا مَا ٱبۡتَلَىٰهُ رَبُّهُۥ فَأَكۡرَمَهُۥ وَنَعَّمَهُۥ فَيَقُولُ رَبِّيٓ أَكۡرَمَنِ

15. Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira e birungi, omuntu oyo agamba nti Katonda wange ampadde. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 89

وَأَمَّآ إِذَا مَا ٱبۡتَلَىٰهُ فَقَدَرَ عَلَيۡهِ رِزۡقَهُۥ فَيَقُولُ رَبِّيٓ أَهَٰنَنِ

16. Ku ludda olulala bw'aba amugezesezza n'amufundiza ebyenfunaye agamba nti omulezi wange (Katonda) anzikakkanyiza. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 89

كَلَّاۖ بَل لَّا تُكۡرِمُونَ ٱلۡيَتِيمَ

17. Nedda, wabula temuyisa bulungi ba Mulekwa. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 89

وَلَا تَحَٰٓضُّونَ عَلَىٰ طَعَامِ ٱلۡمِسۡكِينِ

18. Era temwekubiriza kuliisa banaku. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 89

وَتَأۡكُلُونَ ٱلتُّرَاثَ أَكۡلٗا لَّمّٗا

19. Ate nga mulya emmaali ya ba Mulekwa, olulya olugimalawo. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 89

وَتُحِبُّونَ ٱلۡمَالَ حُبّٗا جَمّٗا

20. Era nga mwagala eby'enfuna okwagala okuyitiridde. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 89

كَلَّآۖ إِذَا دُكَّتِ ٱلۡأَرۡضُ دَكّٗا دَكّٗا

21. Nedda eyo si y'endaba e ntuufu ey’ebintu, e nsi bwe ribeera nga ebetenteddwa. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 89

وَجَآءَ رَبُّكَ وَٱلۡمَلَكُ صَفّٗا صَفّٗا

22. Omuleziwo n'ajja nga ne Ba Malayika basimbye ennyiriri. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 89

وَجِاْيٓءَ يَوۡمَئِذِۭ بِجَهَنَّمَۚ يَوۡمَئِذٖ يَتَذَكَّرُ ٱلۡإِنسَٰنُ وَأَنَّىٰ لَهُ ٱلذِّكۡرَىٰ

23. Era kwolwo o muliro Jahannama gulireetebwa, kwolwo nno omuntu alijjukira (bye yakola ku nsi) naye okujjukira kuno kugenda ku mugasaaki. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 89

يَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي قَدَّمۡتُ لِحَيَاتِي

24. Agenda kugamba: zinsanze nze. Singa nategekera obulamu bwange buno. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 89

فَيَوۡمَئِذٖ لَّا يُعَذِّبُ عَذَابَهُۥٓ أَحَدٞ

25. Olunaku olwo (Katonda) e bibonerezo by'agenda okubonereza nabyo tewali n'omu yali abibonerezzaako. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 89

وَلَا يُوثِقُ وَثَاقَهُۥٓ أَحَدٞ

26. Era ensiba gyalisiba ku lunaku olwo tewali yali agisibyeko. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 89

يَٰٓأَيَّتُهَا ٱلنَّفۡسُ ٱلۡمُطۡمَئِنَّةُ

27. Owange ggwe omwoyo omutebenkevu (omuntu). info
التفاسير:

external-link copy
28 : 89

ٱرۡجِعِيٓ إِلَىٰ رَبِّكِ رَاضِيَةٗ مَّرۡضِيَّةٗ

28. Dda eri Omuleziwo ng'oli musanyufu era asiimiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 89

فَٱدۡخُلِي فِي عِبَٰدِي

29. Olwo nno oyingire mu baddu bange (abalongoofu). info
التفاسير:

external-link copy
30 : 89

وَٱدۡخُلِي جَنَّتِي

30. Era oyingire mu jjana yange. info
التفاسير: