แปล​ความหมาย​อัลกุรอาน​ - คำแปลภาษาลูกันดา - โดยมูลนิธิแอฟริกาเพื่อการพัฒนา

หมายเลข​หน้า​:close

external-link copy
53 : 29

وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَوۡلَآ أَجَلٞ مُّسَمّٗى لَّجَآءَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ وَلَيَأۡتِيَنَّهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

53 . Bakusaba (mu ngeri y'olujereegerero) obanguyize ebibonerezo, singa tewaaliwo kiseera kigere bibonerezo byandibajjidde (awo we baalibadde babisabidde) era ddala e bibonerezo bya kubajjira kibwatukira nga nabo tebategedde. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 29

يَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمُحِيطَةُۢ بِٱلۡكَٰفِرِينَ

54 . Bakusaba obanguyirize e bibonerezo (naye mazima tebamanyi) nti mazima omuliro Jahannama ddala gulitaayiza abakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 29

يَوۡمَ يَغۡشَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَمِن تَحۡتِ أَرۡجُلِهِمۡ وَيَقُولُ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

55 . Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 29

يَٰعِبَادِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّ أَرۡضِي وَٰسِعَةٞ فَإِيَّٰيَ فَٱعۡبُدُونِ

56 . Abange mmwe abaddu bange abakkiriza (bwe muba nga muli mu kunyigirizibwa) mazima ensi yange ngazi (musenguke munsinzize awalala), era nze nzekka nze gwe muba musinza. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 29

كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۖ ثُمَّ إِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ

57 . Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma gye tuli gye mujja okuzzibwa. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 29

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَنُبَوِّئَنَّهُم مِّنَ ٱلۡجَنَّةِ غُرَفٗا تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ نِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ

58 . Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge eby'awaggulu mu jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera ya bakola obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 29

ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ

59 . Abo abagumiikiriza era nga beesiga Katonda waabwe. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 29

وَكَأَيِّن مِّن دَآبَّةٖ لَّا تَحۡمِلُ رِزۡقَهَا ٱللَّهُ يَرۡزُقُهَا وَإِيَّاكُمۡۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

60 . Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 29

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ

61 . Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima!. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 29

ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ

62 . Katonda agaziya ebyenfuna eri omuntu gwaba ayagadde mu baddube ate naafundiza oyo gwaba (ayagadde), mazima Katonda ku buli kintu mumanyi nnyo. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 29

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّن نَّزَّلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ مِنۢ بَعۡدِ مَوۡتِهَا لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ

63 . Era bwobabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Katonda, gamba nti okutenderezebwa kwa Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebategeera. info
التفاسير: