Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

external-link copy
19 : 34

فَقَالُواْ رَبَّنَا بَٰعِدۡ بَيۡنَ أَسۡفَارِنَا وَظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَ وَمَزَّقۡنَٰهُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ

19 . Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, ssa amabanga manene (okutuuka wetusobola okuwummulira) mu ngendo zaffe. Mu kukola ekyo nebaba nga beelyazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owa nnamaddala eyeebaza ennyo. info
التفاسير: