Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

external-link copy
230 : 2

فَإِن طَلَّقَهَا فَلَا تَحِلُّ لَهُۥ مِنۢ بَعۡدُ حَتَّىٰ تَنكِحَ زَوۡجًا غَيۡرَهُۥۗ فَإِن طَلَّقَهَا فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَآ أَن يَتَرَاجَعَآ إِن ظَنَّآ أَن يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِۗ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ يُبَيِّنُهَا لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ

230. Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okugyako nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddingana (N'oli eyasooka okumuta enta essatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno gemateeka ga Katonda agannyonnyola abantu abategeera. info
التفاسير: