Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit

Al Masad

external-link copy
1 : 111

تَبَّتۡ يَدَآ أَبِي لَهَبٖ وَتَبَّ

1. Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 111

مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُ مَالُهُۥ وَمَا كَسَبَ

2. Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa). info
التفاسير:

external-link copy
3 : 111

سَيَصۡلَىٰ نَارٗا ذَاتَ لَهَبٖ

3. Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 111

وَٱمۡرَأَتُهُۥ حَمَّالَةَ ٱلۡحَطَبِ

4. Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo). info
التفاسير:

external-link copy
5 : 111

فِي جِيدِهَا حَبۡلٞ مِّن مَّسَدِۭ

5. Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange. info
التفاسير: