Vertaling van de betekenissen Edele Qur'an - Luganda-vertaling - Afrikaanse Ontwikkelingsstichting

Pagina nummer:close

external-link copy
260 : 2

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ

260. Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
261 : 2

مَّثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ كَمَثَلِ حَبَّةٍ أَنۢبَتَتۡ سَبۡعَ سَنَابِلَ فِي كُلِّ سُنۢبُلَةٖ مِّاْئَةُ حَبَّةٖۗ وَٱللَّهُ يُضَٰعِفُ لِمَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٌ

261. Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya. info
التفاسير:

external-link copy
262 : 2

ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ لَا يُتۡبِعُونَ مَآ أَنفَقُواْ مَنّٗا وَلَآ أَذٗى لَّهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ

262. Abo abawaayo e mmaali mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala. info
التفاسير:

external-link copy
263 : 2

۞ قَوۡلٞ مَّعۡرُوفٞ وَمَغۡفِرَةٌ خَيۡرٞ مِّن صَدَقَةٖ يَتۡبَعُهَآ أَذٗىۗ وَٱللَّهُ غَنِيٌّ حَلِيمٞ

263. Ekigambo akyobuntu bulamu n'obutayogerera bubi musabi kirungi okusinga saddaaka egoberezebwako ebigambo ebitasanyusa, bulijjo Katonda ssi mwetaavu (era) ow'ekisa ekingi. info
التفاسير:

external-link copy
264 : 2

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُبۡطِلُواْ صَدَقَٰتِكُم بِٱلۡمَنِّ وَٱلۡأَذَىٰ كَٱلَّذِي يُنفِقُ مَالَهُۥ رِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَلَا يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۖ فَمَثَلُهُۥ كَمَثَلِ صَفۡوَانٍ عَلَيۡهِ تُرَابٞ فَأَصَابَهُۥ وَابِلٞ فَتَرَكَهُۥ صَلۡدٗاۖ لَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّمَّا كَسَبُواْۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

264. Abange mmwe abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe kulwokuziraalasa n’okuzigoberezaako ebigambo ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olwabantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwaazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba naalutonnyako naaluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola kulwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebabifunamu mpeera mumaaso g’a Katonda bwatyo nno Katonda talungamya bantu bajeemu. info
التفاسير: