വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
50 : 40

قَالُوٓاْ أَوَلَمۡ تَكُ تَأۡتِيكُمۡ رُسُلُكُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ قَالُواْ بَلَىٰۚ قَالُواْ فَٱدۡعُواْۗ وَمَا دُعَٰٓؤُاْ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٍ

50. (Abakuumi bo muliro) baligamba nti abaffe ababaka ba mmwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala, baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa bakafiiri tekuba okugyako mu bubuze. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 40

إِنَّا لَنَنصُرُ رُسُلَنَا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَيَوۡمَ يَقُومُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ

51. Mazima ffe ddala tutaasa ababaka baffe naabo abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala obubaka bwatusibwa ku bantu). info
التفاسير:

external-link copy
52 : 40

يَوۡمَ لَا يَنفَعُ ٱلظَّٰلِمِينَ مَعۡذِرَتُهُمۡۖ وَلَهُمُ ٱللَّعۡنَةُ وَلَهُمۡ سُوٓءُ ٱلدَّارِ

52. Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwebalina obutuulo obubi (omuliro). info
التفاسير:

external-link copy
53 : 40

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡهُدَىٰ وَأَوۡرَثۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ

53. Mazima twawa Musa obulungamu era netusikiza abaana ba Israil ekitabo (ekyo). info
التفاسير:

external-link copy
54 : 40

هُدٗى وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ

54. Nga bulungamu era nga kya kujjukiza eri abo abalina amagezi. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 40

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لِذَنۢبِكَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِبۡكَٰرِ

55. Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima era saba ekisonyiwo olw'ekibi kyo, era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo olweggulo ne kumakya. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 40

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ سُلۡطَٰنٍ أَتَىٰهُمۡ إِن فِي صُدُورِهِمۡ إِلَّا كِبۡرٞ مَّا هُم بِبَٰلِغِيهِۚ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ

56. Mazima abo abawalaaza empaka ku bubonero bwa Katonda awatali bujulizi bubajjidde, mu bifuba byabwe temuli okugyako okwekuza ate nga tekuyinza kukibatuusaako (ekye kitiibwa n'obulungi Katonda bya gonnomola ku Nabbi we) kale nno saba obukuumi ewa Katonda (anti) mazima yye yemuwulizi omulabi enyo. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 40

لَخَلۡقُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ أَكۡبَرُ مِنۡ خَلۡقِ ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

57. Ddala, okutonda eggulu omusanvu n'ensi kinene okusinga okutonda abantu, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 40

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَلَا ٱلۡمُسِيٓءُۚ قَلِيلٗا مَّا تَتَذَكَّرُونَ

58. Era muzibe n'alaba tebenkana nga bwe batenkana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nomwonoonyi (wabula) mujjukira kitono nnyo. info
التفاسير: