വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
78 : 40

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلٗا مِّن قَبۡلِكَ مِنۡهُم مَّن قَصَصۡنَا عَلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّن لَّمۡ نَقۡصُصۡ عَلَيۡكَۗ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأۡتِيَ بِـَٔايَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُ ٱللَّهِ قُضِيَ بِٱلۡحَقِّ وَخَسِرَ هُنَالِكَ ٱلۡمُبۡطِلُونَ

78. Mazima twatuma ababaka oluberyeberye lwo, mu bo mulimu betwakunyumizaako, era mu bo mulimu betutakunyumizaako, era Nabbi yenna yali tayinza kuleeta kya magero okugyako nga Katonda yasazeewo, kale nno ekigambo kya Katonda bwekirijja ensonga zirilamulwa mu mazima, era awo abonoonyi webalifafaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
79 : 40

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَنۡعَٰمَ لِتَرۡكَبُواْ مِنۡهَا وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

79. Katonda ye yooyo eyabassizaawo ensolo ez’omumaka ezimu ku zo muzebagale era nga neezimu kwemulya. info
التفاسير:

external-link copy
80 : 40

وَلَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ وَلِتَبۡلُغُواْ عَلَيۡهَا حَاجَةٗ فِي صُدُورِكُمۡ وَعَلَيۡهَا وَعَلَى ٱلۡفُلۡكِ تُحۡمَلُونَ

80. Era mulina mu zo emigaso (emirala ng’ate mingi olwokuzikozesa), mutuukiriza ekyetaago kye mulina mu bifuba bya mmwe (ekyo kujjulula emigugu gya mmwe okuva ebunaayira), era nga musitulirwa ku zo ne ku maato. info
التفاسير:

external-link copy
81 : 40

وَيُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ فَأَيَّ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ تُنكِرُونَ

81. Era (bulijjo Katonda) abalaga obubonero bwe, kaakano bubonero ki obwa Katonda bwe muwakanya. info
التفاسير:

external-link copy
82 : 40

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَكۡثَرَ مِنۡهُمۡ وَأَشَدَّ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

82. Abaffe tebatambulako mu nsi nebalala yali etya enkomerero yaabo ababakulembera, (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula tebyabagasa ebyo bye baakola. info
التفاسير:

external-link copy
83 : 40

فَلَمَّا جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَرِحُواْ بِمَا عِندَهُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

83. Anti ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bazingwako ebyo bye baali bajeeja. info
التفاسير:

external-link copy
84 : 40

فَلَمَّا رَأَوۡاْ بَأۡسَنَا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَحۡدَهُۥ وَكَفَرۡنَا بِمَا كُنَّا بِهِۦ مُشۡرِكِينَ

84. Bwe baalaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe nebagamba nti tukkiriza Katonda yekka era netuwakanya ebyo byonna bye twali tumugattako. info
التفاسير:

external-link copy
85 : 40

فَلَمۡ يَكُ يَنفَعُهُمۡ إِيمَٰنُهُمۡ لَمَّا رَأَوۡاْ بَأۡسَنَاۖ سُنَّتَ ٱللَّهِ ٱلَّتِي قَدۡ خَلَتۡ فِي عِبَادِهِۦۖ وَخَسِرَ هُنَالِكَ ٱلۡكَٰفِرُونَ

85. Okukkiriza kwabwe tekwali kwa kubagasa (okwo kwe balangirira), bwe baamala okulaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe (era nga eyo) yenkola ya Katonda eyo ezze ekola mu baddu be, era (ebibonerezo bya Katonda bwe bitandika okussibwa mu nkola) abakafiiri awo wennyini baba bamaze okufafaaganirwa (ne bwekuba kwenenya kuba tekukyakkirizibwa). info
التفاسير: