വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
34 : 40

وَلَقَدۡ جَآءَكُمۡ يُوسُفُ مِن قَبۡلُ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَمَا زِلۡتُمۡ فِي شَكّٖ مِّمَّا جَآءَكُم بِهِۦۖ حَتَّىٰٓ إِذَا هَلَكَ قُلۡتُمۡ لَن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ مِنۢ بَعۡدِهِۦ رَسُولٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَنۡ هُوَ مُسۡرِفٞ مُّرۡتَابٌ

34. Era mazima Yusuf yabajjira oluberyeberye n’obujulizi kyokka mwasigala muli mu kubuusabuusa kwebyo bye yabaleetera, okutuusa nga amaze okufa olwo nno nemugamba nti Katonda tagenda kutuma mubaka yenna luvannyuma lwe, bwatyo nno Katonda bwabuza buli oyo yenna yye eyegalabanja abuusabuusa. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 40

ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ سُلۡطَٰنٍ أَتَىٰهُمۡۖ كَبُرَ مَقۡتًا عِندَ ٱللَّهِ وَعِندَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ قَلۡبِ مُتَكَبِّرٖ جَبَّارٖ

35. Abo abawakana ku bikwata ku bigambo bya Katonda awatali bujulizi bubajjidde (ekikolwa ekyo) kibi, kinene nnyo ewa Katonda, newaabo abakkiriza, bwatyo Katonda bwazibikira ku buli mutima gwo mwekuza, kiwagi. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 40

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ يَٰهَٰمَٰنُ ٱبۡنِ لِي صَرۡحٗا لَّعَلِّيٓ أَبۡلُغُ ٱلۡأَسۡبَٰبَ

36. Firawo nagamba nti owange Hamaana (katikkiro we) nzimbira omunaala oba olyawo naatuka ku makubo. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 40

أَسۡبَٰبَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ فَأَطَّلِعَ إِلَىٰٓ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُۥ كَٰذِبٗاۚ وَكَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِفِرۡعَوۡنَ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ وَصُدَّ عَنِ ٱلسَّبِيلِۚ وَمَا كَيۡدُ فِرۡعَوۡنَ إِلَّا فِي تَبَابٖ

37. Amakubo g'eggulu omusanvu olwo nno mbe nga ndaba Katonda wa Musa, wabula mazima mmulowooza okuba nti mulimba, bwatyo Firawo emirimu gye emibi gyamulabisibwa nga mirungi, olwo nno naggibwa ku kkubo, era enkwe za Firawo tezaali okugyako mu kugootaana. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 40

وَقَالَ ٱلَّذِيٓ ءَامَنَ يَٰقَوۡمِ ٱتَّبِعُونِ أَهۡدِكُمۡ سَبِيلَ ٱلرَّشَادِ

38. Era oyo eyakkiriza yagamba nti mungoberere mbalagirire ekkubo lyo bulungamu. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 40

يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا مَتَٰعٞ وَإِنَّ ٱلۡأٓخِرَةَ هِيَ دَارُ ٱلۡقَرَارِ

39. Abange bantu bange mazima obulamu bwe nsi buno bwakiyita mu lujja, era mazima enkomerero, y’enyumba eyolubereera. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 40

مَنۡ عَمِلَ سَيِّئَةٗ فَلَا يُجۡزَىٰٓ إِلَّا مِثۡلَهَاۖ وَمَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا مِّن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَأُوْلَٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ يُرۡزَقُونَ فِيهَا بِغَيۡرِ حِسَابٖ

40. Oyo yenna akola omulimu omubi tasasulwa okugyako ekigwenkana, ate oyo akola omulimu omulongoofu kaabe musajja oba mukazi (naagukola) nga mukkiriza, abo nno baliyingira e jjana baligabirirwa mu yo awatali kubalirira. info
التفاسير: