ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
58 : 7

وَٱلۡبَلَدُ ٱلطَّيِّبُ يَخۡرُجُ نَبَاتُهُۥ بِإِذۡنِ رَبِّهِۦۖ وَٱلَّذِي خَبُثَ لَا يَخۡرُجُ إِلَّا نَكِدٗاۚ كَذَٰلِكَ نُصَرِّفُ ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَشۡكُرُونَ

58. E kitundu kye nsi e kirungi ebisigwamu bimera bulungi olw'obuyinza bwa Mukama omulabirizi w'akyo, kyo e kibi tebimera okugyako nga bibi, bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo abantu abeebaza. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 7

لَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓ إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ

59. Mazima twatuma Nuhu eri abantu be, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, tewali kirala kyonna kisaana kusinzibwa mazima nze mbatiisa e bibonerezo by'olunaku oluzito. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 7

قَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِهِۦٓ إِنَّا لَنَرَىٰكَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ

60. Abakungu mu bantu be ne bagamba nti, mazima ffe tukulaba ng’oli mu bubuze obweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 7

قَالَ يَٰقَوۡمِ لَيۡسَ بِي ضَلَٰلَةٞ وَلَٰكِنِّي رَسُولٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

61. Naagamba nti bantu bange siriiko bubuze bwonna naye mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 7

أُبَلِّغُكُمۡ رِسَٰلَٰتِ رَبِّي وَأَنصَحُ لَكُمۡ وَأَعۡلَمُ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ

62. Nga mbatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nga mbabuulirira, era nga mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 7

أَوَعَجِبۡتُمۡ أَن جَآءَكُمۡ ذِكۡرٞ مِّن رَّبِّكُمۡ عَلَىٰ رَجُلٖ مِّنكُمۡ لِيُنذِرَكُمۡ وَلِتَتَّقُواْ وَلَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ

63. Mwewuunya okulaba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! nga bukkira ku Musajja ava mu mmwe, n'aba nga abeekesa, era kibafuule abatya Katonda mube nga musaasirwa. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 7

فَكَذَّبُوهُ فَأَنجَيۡنَٰهُ وَٱلَّذِينَ مَعَهُۥ فِي ٱلۡفُلۡكِ وَأَغۡرَقۡنَا ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمًا عَمِينَ

64. Ne bamulimbisa ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato, era ne tuzikiriza abo abaalimbisa e bigambo byaffe, anti mazima bo baali ba muzibe. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 7

۞ وَإِلَىٰ عَادٍ أَخَاهُمۡ هُودٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ

65. N’abeekika kya Aadi twabaatumamu muganda waabwe Huud, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, temulinaayo kirala kitali yye kisaana kusinzibwa, abaffe temutya? info
التفاسير:

external-link copy
66 : 7

قَالَ ٱلۡمَلَأُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦٓ إِنَّا لَنَرَىٰكَ فِي سَفَاهَةٖ وَإِنَّا لَنَظُنُّكَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ

66. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be nebagamba nti mazima ffe tukulaba ng’oli mu bya butaliimu, era mazima ffe tukulaba, ng’omu ku balimba. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 7

قَالَ يَٰقَوۡمِ لَيۡسَ بِي سَفَاهَةٞ وَلَٰكِنِّي رَسُولٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

67. Naagamba nti bantu bange siri mu bya bwe wussa, wabula mazima ddala nze ndi Mubaka atumiddwa Mukama omulabirizi w’ebitonde. info
التفاسير: