ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
179 : 7

وَلَقَدۡ ذَرَأۡنَا لِجَهَنَّمَ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِۖ لَهُمۡ قُلُوبٞ لَّا يَفۡقَهُونَ بِهَا وَلَهُمۡ أَعۡيُنٞ لَّا يُبۡصِرُونَ بِهَا وَلَهُمۡ ءَاذَانٞ لَّا يَسۡمَعُونَ بِهَآۚ أُوْلَٰٓئِكَ كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّۚ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ

179. Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini). info
التفاسير:

external-link copy
180 : 7

وَلِلَّهِ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰ فَٱدۡعُوهُ بِهَاۖ وَذَرُواْ ٱلَّذِينَ يُلۡحِدُونَ فِيٓ أَسۡمَٰٓئِهِۦۚ سَيُجۡزَوۡنَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

180. Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannyage, balisasulwa ebyo bye baakola. info
التفاسير:

external-link copy
181 : 7

وَمِمَّنۡ خَلَقۡنَآ أُمَّةٞ يَهۡدُونَ بِٱلۡحَقِّ وَبِهِۦ يَعۡدِلُونَ

181. Mu bantu betwatonda, mulimu e kibiina nga bo bakolera ku mazima, era gebakozesa okukola obwenkanya wakati w’abantu. info
التفاسير:

external-link copy
182 : 7

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا سَنَسۡتَدۡرِجُهُم مِّنۡ حَيۡثُ لَا يَعۡلَمُونَ

182. Naabo abaalimbisa tujja kubatwaliriza mpola, naye tubakwate nga tebamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
183 : 7

وَأُمۡلِي لَهُمۡۚ إِنَّ كَيۡدِي مَتِينٌ

183. Era mbalindiriza nebeeyagalira (mu byengera) naye nga mazima entegeka yange nnyweevu. info
التفاسير:

external-link copy
184 : 7

أَوَلَمۡ يَتَفَكَّرُواْۗ مَا بِصَاحِبِهِم مِّن جِنَّةٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا نَذِيرٞ مُّبِينٌ

184. Abaffe tebaalowoozaako (n’omulundo n'ogumu) nti munnaabwe ono si mugwi wa ddalu, (e kituufu kiri nti) tali kintu kyonna okugyako okuba nti mutiisa ow’olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
185 : 7

أَوَلَمۡ يَنظُرُواْ فِي مَلَكُوتِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا خَلَقَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٖ وَأَنۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ قَدِ ٱقۡتَرَبَ أَجَلُهُمۡۖ فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَهُۥ يُؤۡمِنُونَ

185. Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Katonda kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza!. info
التفاسير:

external-link copy
186 : 7

مَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَلَا هَادِيَ لَهُۥۚ وَيَذَرُهُمۡ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ

186. Oyo yenna Katonda gwabuza tewali ayinza ku mulungamya, era abaleka mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta. info
التفاسير:

external-link copy
187 : 7

يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلسَّاعَةِ أَيَّانَ مُرۡسَىٰهَاۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ رَبِّيۖ لَا يُجَلِّيهَا لِوَقۡتِهَآ إِلَّا هُوَۚ ثَقُلَتۡ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ لَا تَأۡتِيكُمۡ إِلَّا بَغۡتَةٗۗ يَسۡـَٔلُونَكَ كَأَنَّكَ حَفِيٌّ عَنۡهَاۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ ٱللَّهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

187. Bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero nti lulituuka ddi, gamba nti, mazima ebirukwatako Mukama omulabirizi wange y'abimanyi, tewali ayinza ku kubuulira mu butuufu nti lulituuka ddi? okugyako yye, ebilukwatako bizito mu ggulu omusanvu, ne ku nsi, terugenda kubajjira okugyako kibwatukira, balukubuuza ng’olinga alumanyiiko ennyo, gamba nti, mazima ebyokumanya olunaku olwo biri wa Katonda, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi. info
التفاسير: