ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
96 : 7

وَلَوۡ أَنَّ أَهۡلَ ٱلۡقُرَىٰٓ ءَامَنُواْ وَٱتَّقَوۡاْ لَفَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَرَكَٰتٖ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَٰكِن كَذَّبُواْ فَأَخَذۡنَٰهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

96. Singa abantu b’o mu bitundu e byo bakkiriza ne batya Katonda, twandibagguliddewo e mikisa okuva mu ggulu ne mu nsi, naye baalimbisa, olwo nno netubabonereza olw’ebyo bye baakola. info
التفاسير:

external-link copy
97 : 7

أَفَأَمِنَ أَهۡلُ ٱلۡقُرَىٰٓ أَن يَأۡتِيَهُم بَأۡسُنَا بَيَٰتٗا وَهُمۡ نَآئِمُونَ

97. Abaffe abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza kubatuukako kiro, nga nabo beebase. info
التفاسير:

external-link copy
98 : 7

أَوَأَمِنَ أَهۡلُ ٱلۡقُرَىٰٓ أَن يَأۡتِيَهُم بَأۡسُنَا ضُحٗى وَهُمۡ يَلۡعَبُونَ

98. Oba abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza ku batuukako misana, nga nabo bali mu kutiguka. info
التفاسير:

external-link copy
99 : 7

أَفَأَمِنُواْ مَكۡرَ ٱللَّهِۚ فَلَا يَأۡمَنُ مَكۡرَ ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡقَوۡمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ

99. Abaffe baawona okusalawo kw’a Katonda, (e kituufu kiri nti) tewali ayinza kulowooza nti ayinza okuwona okusalawo kw’a Katonda okugyako abantu abafaafaaganirwa. info
التفاسير:

external-link copy
100 : 7

أَوَلَمۡ يَهۡدِ لِلَّذِينَ يَرِثُونَ ٱلۡأَرۡضَ مِنۢ بَعۡدِ أَهۡلِهَآ أَن لَّوۡ نَشَآءُ أَصَبۡنَٰهُم بِذُنُوبِهِمۡۚ وَنَطۡبَعُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ فَهُمۡ لَا يَسۡمَعُونَ

100. Abaffe tekitegeerekeka eri abo abasikira e nsi oluvanyuma lw’abagibaddemu okufa nti, singa twayagala twalibavunaanye olw’e byonoono bya bwe, ne tuteeka e nvumbo ku mitima gyabwe nebaba nga tebawulira. info
التفاسير:

external-link copy
101 : 7

تِلۡكَ ٱلۡقُرَىٰ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآئِهَاۚ وَلَقَدۡ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَمَا كَانُواْ لِيُؤۡمِنُواْ بِمَا كَذَّبُواْ مِن قَبۡلُۚ كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِ ٱلۡكَٰفِرِينَ

101. E bitundu e byo tukutegeeza e bimu ku byafaayo byabyo, era mazima ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baali tebayinza kukkiriza ebyo bye baalimbisa mu kusooka, bulijjo bwatyo Katonda bwazibikira e mitima gy’a bakafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
102 : 7

وَمَا وَجَدۡنَا لِأَكۡثَرِهِم مِّنۡ عَهۡدٖۖ وَإِن وَجَدۡنَآ أَكۡثَرَهُمۡ لَفَٰسِقِينَ

102. Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
103 : 7

ثُمَّ بَعَثۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِم مُّوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَظَلَمُواْ بِهَاۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُفۡسِدِينَ

103. Ate oluvanyuma lwabwe, twatuma Musa ewa Firawo n’abakungube, nga tumuwadde eby’amagero byaffe nebabiwakanya, kale nno, fumiitiriza olabe e nkomerero y’aboonoonyi nga bwe yali. info
التفاسير:

external-link copy
104 : 7

وَقَالَ مُوسَىٰ يَٰفِرۡعَوۡنُ إِنِّي رَسُولٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

104. Musa naagamba nti, owange Firawo mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde. info
التفاسير: