ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
55 : 36

إِنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ ٱلۡيَوۡمَ فِي شُغُلٖ فَٰكِهُونَ

55 . Mazima abantu b'omu jjana ku lunaku olwo balibeera mu kwetala olw'amasanyu gebalibeeramu. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 36

هُمۡ وَأَزۡوَٰجُهُمۡ فِي ظِلَٰلٍ عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ مُتَّكِـُٔونَ

56 . Bo n'abo be baafumbiriganwa nabo bagenda kubeera mu bisiikirize nga beesigamye ebitanda ebiwunde. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 36

لَهُمۡ فِيهَا فَٰكِهَةٞ وَلَهُم مَّا يَدَّعُونَ

57 . Balina mu yo buli kika kya bibala era bagenda kufuna buli kye baliba basabye. info
التفاسير:

external-link copy
58 : 36

سَلَٰمٞ قَوۡلٗا مِّن رَّبّٖ رَّحِيمٖ

58 . (Bagenda kufuna ekyengera ekisinga ebyo) nakyo salaamu nga kigambo ekiriva ewa Mukama omulabirizi waabwe ow'ekisa ekingi. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 36

وَٱمۡتَٰزُواْ ٱلۡيَوۡمَ أَيُّهَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ

59 . Naye bo aboonoonyi bagenda kugambibwa nti: abange mmwe aboonoonyi olwa leero mweyawule (ku bakkiriza). info
التفاسير:

external-link copy
60 : 36

۞ أَلَمۡ أَعۡهَدۡ إِلَيۡكُمۡ يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ أَن لَّا تَعۡبُدُواْ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ

60 . Abange mmwe ezadde lya Adam abaffe ssaabakozesa endagaano nti: temusinzanga Sitane olw'okuba yye mulabe wa mmwe omweyolefu!. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 36

وَأَنِ ٱعۡبُدُونِيۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ

61 . Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo lye kkubo ettuufu. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 36

وَلَقَدۡ أَضَلَّ مِنكُمۡ جِبِلّٗا كَثِيرًاۖ أَفَلَمۡ تَكُونُواْ تَعۡقِلُونَ

62 . Mazima (sitane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 36

هَٰذِهِۦ جَهَنَّمُ ٱلَّتِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ

63 . Guno nno gwe muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
64 : 36

ٱصۡلَوۡهَا ٱلۡيَوۡمَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ

64 . Muguyingire olwa leero olw'ebyo bye mwalinga muwakanya. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 36

ٱلۡيَوۡمَ نَخۡتِمُ عَلَىٰٓ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَتُكَلِّمُنَآ أَيۡدِيهِمۡ وَتَشۡهَدُ أَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

65 . Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 36

وَلَوۡ نَشَآءُ لَطَمَسۡنَا عَلَىٰٓ أَعۡيُنِهِمۡ فَٱسۡتَبَقُواْ ٱلصِّرَٰطَ فَأَنَّىٰ يُبۡصِرُونَ

66 . Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno nebaba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya!. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 36

وَلَوۡ نَشَآءُ لَمَسَخۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ مَكَانَتِهِمۡ فَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ مُضِيّٗا وَلَا يَرۡجِعُونَ

67 . Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 36

وَمَن نُّعَمِّرۡهُ نُنَكِّسۡهُ فِي ٱلۡخَلۡقِۚ أَفَلَا يَعۡقِلُونَ

68 . Oyo yenna gwe tuba tuwangaazizza tumuzzaayo n'aba munafu mu butonde, abaffe tebategeera!. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 36

وَمَا عَلَّمۡنَٰهُ ٱلشِّعۡرَ وَمَا يَنۢبَغِي لَهُۥٓۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ وَقُرۡءَانٞ مُّبِينٞ

69 . (Nabbi Muhammad) tetumuyigirizanga kutontoma era tekimugwanira, bye yajja nabyo tebiri okugyako nga bya kujjukiza era nga Kur’ani ennyonnyola. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 36

لِّيُنذِرَ مَن كَانَ حَيّٗا وَيَحِقَّ ٱلۡقَوۡلُ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ

70 . (Nabbi Muhmmad) alyoke atiise oyo yenna omulamu era ekigambo (eky'ebibonerezo) kikakate ku bakaafiiri. info
التفاسير: