ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
13 : 36

وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلًا أَصۡحَٰبَ ٱلۡقَرۡيَةِ إِذۡ جَآءَهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ

13 . Bakubire ekifaanayi ky'abantu bo mu kitundu ekimu bwe bajjirwa ababaka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 36

إِذۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمُ ٱثۡنَيۡنِ فَكَذَّبُوهُمَا فَعَزَّزۡنَا بِثَالِثٖ فَقَالُوٓاْ إِنَّآ إِلَيۡكُم مُّرۡسَلُونَ

14 . Mu kiseera bwe twatumira gye bali ababaka babiri ne babalimbisa, olwo nno netubongera amaanyi n’owokusatu (bonsatule) nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa gye muli. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 36

قَالُواْ مَآ أَنتُمۡ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَمَآ أَنزَلَ ٱلرَّحۡمَٰنُ مِن شَيۡءٍ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا تَكۡذِبُونَ

15 . (Abo mu kitundu ekyo) ne bagamba nti: mmwe temuli okugyako (okuba) bantu bannaffe era Katonda omusaasizi ennyo tassanga kintu kyonna temuli mmwe okugyako okuba nga mulimba (bulimbi). info
التفاسير:

external-link copy
16 : 36

قَالُواْ رَبُّنَا يَعۡلَمُ إِنَّآ إِلَيۡكُمۡ لَمُرۡسَلُونَ

16 . (Ababaka) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe omanyi nti mazima ddala ffe tutumiddwa gye muli. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 36

وَمَا عَلَيۡنَآ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ

17 . Era tetuvunaanyizibwa okugyako okutuusa obubaka mu bunnyonnyofu. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 36

قَالُوٓاْ إِنَّا تَطَيَّرۡنَا بِكُمۡۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهُواْ لَنَرۡجُمَنَّكُمۡ وَلَيَمَسَّنَّكُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٞ

18 . (Abo mu kitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwa mmwe, bwe muteekomeko tujja kubakasukira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gye tuli. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 36

قَالُواْ طَٰٓئِرُكُم مَّعَكُمۡ أَئِن ذُكِّرۡتُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ مُّسۡرِفُونَ

19 . (Ababaka) ne bagamba nti okutya kwa mmwe okutuukibwako obuzibu mwe mukyereetedde (bwe mugaanye okuwuliriza obubaka bwe muleeteddwa) wabula mmwe muli bantu abayitirivu mu kwonoona. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 36

وَجَآءَ مِنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ رَجُلٞ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰقَوۡمِ ٱتَّبِعُواْ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

20 . olwo nno omusajja najja nga ava ku nkomerero y’ekibuga nga ayanguwa naagamba nti: abange bantu bange mugoberere ababaka. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 36

ٱتَّبِعُواْ مَن لَّا يَسۡـَٔلُكُمۡ أَجۡرٗا وَهُم مُّهۡتَدُونَ

21 . Mugoberere abo abatabasaba mpeera ate nga bo balungamu. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 36

وَمَالِيَ لَآ أَعۡبُدُ ٱلَّذِي فَطَرَنِي وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

22 . Nina ki okuba nti sisinza oyo eyantonda, ate nga gyali gye mulizzibwa!. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 36

ءَأَتَّخِذُ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةً إِن يُرِدۡنِ ٱلرَّحۡمَٰنُ بِضُرّٖ لَّا تُغۡنِ عَنِّي شَفَٰعَتُهُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يُنقِذُونِ

23 . Ndeke Katonda neeteerewo ebisinzibwa ebirala, so nga singa Katonda omusaasizi ennyo anjagaliza akabi okuwolereza kwabyo tekwandingasizza kintu kyonna era tebiyinza kunziruukirira. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 36

إِنِّيٓ إِذٗا لَّفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ

24 . (Singa nkikola) mazima nze olwo njakuba mu bubuze obweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 36

إِنِّيٓ ءَامَنتُ بِرَبِّكُمۡ فَٱسۡمَعُونِ

25 . Mazima nze nzikiriza Mukama omulabirizi wa mmwe kale mumpulirize. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 36

قِيلَ ٱدۡخُلِ ٱلۡجَنَّةَۖ قَالَ يَٰلَيۡتَ قَوۡمِي يَعۡلَمُونَ

26 . Naagambibwa (nga amaze okufa) nti yingira e jjana, naagamba nti kale singa abantu bange bamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 36

بِمَا غَفَرَ لِي رَبِّي وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُكۡرَمِينَ

27 . Ekyo Mukama omulabirizi wange kyansonyiyidde era nanteeka mwabo abagabulwa (olwaleero). info
التفاسير: