ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
41 : 36

وَءَايَةٞ لَّهُمۡ أَنَّا حَمَلۡنَا ذُرِّيَّتَهُمۡ فِي ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ

41 . Era kabonero gye bali (abantu), mazima ffe twatambuliza bannaabwe mu maato agakubyeko. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 36

وَخَلَقۡنَا لَهُم مِّن مِّثۡلِهِۦ مَا يَرۡكَبُونَ

42 . Era tubatondera agalinga go gebasaabaliramu. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 36

وَإِن نَّشَأۡ نُغۡرِقۡهُمۡ فَلَا صَرِيخَ لَهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنقَذُونَ

43 . Singa twagadde tuyinza okubazikiriza ne batasobola kwekubira nduulu, era nga tebayinza kuddukirirwa. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 36

إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّنَّا وَمَتَٰعًا إِلَىٰ حِينٖ

44 . (Tewali kibaawo) okugyako okusaasira okuva gye tuli ne ku lw'okubeeyagaza okumala ekiseera ekigere. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 36

وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱتَّقُواْ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيكُمۡ وَمَا خَلۡفَكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ

45 . Bwe baba bagambiddwa nti mutye ebyo ebiri mu maaso ga mmwe n'ebyo ebiri emabega wa mmwe, olwo nno mube nga musaasirwa (beesuulirayo gwa naggamba). info
التفاسير:

external-link copy
46 : 36

وَمَا تَأۡتِيهِم مِّنۡ ءَايَةٖ مِّنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِمۡ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ

46 . Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama omulabirizi waabwe kaabajjira okugyako nga baakaawukanako. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 36

وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ أَنفِقُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ قَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنُطۡعِمُ مَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ أَطۡعَمَهُۥٓ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ

47 . Era bwe baba bagambiddwa nti mugabe ku ebyo Katonda bye yabawa abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti abaffe tuliise oyo singa Katonda yayagala yaali muliisizza, temuli mmwe okugyako okuba mu bubuze obw'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 36

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

48 . Era bagamba nti endagaano eyo eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 36

مَا يَنظُرُونَ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ تَأۡخُذُهُمۡ وَهُمۡ يَخِصِّمُونَ

49 . Tebalinda okugyako olubwatuka lumu olulibakwata nga nabo bali mu kukaayana. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 36

فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ تَوۡصِيَةٗ وَلَآ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمۡ يَرۡجِعُونَ

50 . Olwo nno tebagenda kulaama wadde okudda eri abantu baabwe (eka). info
التفاسير:

external-link copy
51 : 36

وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَإِذَا هُم مِّنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يَنسِلُونَ

51 . Olwo engombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga bagenda eri Mukama omulabirizi waabwe nga baanguwa byansusso. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 36

قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا مَنۢ بَعَثَنَا مِن مَّرۡقَدِنَاۜۗ هَٰذَا مَا وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَصَدَقَ ٱلۡمُرۡسَلُونَ

52 . Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okutujja gye tubadde twebase (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 36

إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ

53 . (Okubazuukiza) tekugenda kuba okugyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 36

فَٱلۡيَوۡمَ لَا تُظۡلَمُ نَفۡسٞ شَيۡـٔٗا وَلَا تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

54 . Olwa leero tewali muntu agenda kuyisibwa bubi mu kintu kyonna era temugenda kusasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola. info
التفاسير: