Fassarar Ma'anonin Alqura'ni - Fassara da harshan Lugandiyanci - Gidauniyar Binkasa Africa

Al A’raf

external-link copy
1 : 7

الٓمٓصٓ

1. Alif Laam Miim Swad info
التفاسير:

external-link copy
2 : 7

كِتَٰبٌ أُنزِلَ إِلَيۡكَ فَلَا يَكُن فِي صَدۡرِكَ حَرَجٞ مِّنۡهُ لِتُنذِرَ بِهِۦ وَذِكۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ

2. Kino kitabo e kyassibwa gyoli, tekisaanye kukuleetera nkeka, batiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 7

ٱتَّبِعُواْ مَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُم مِّن رَّبِّكُمۡ وَلَا تَتَّبِعُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَۗ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ

3. Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, temumulekangawo nemugoberera abalala, (ekibi) mujjukira kitono. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 7

وَكَم مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَا فَجَآءَهَا بَأۡسُنَا بَيَٰتًا أَوۡ هُمۡ قَآئِلُونَ

4. E bitundu bimeka bye twazikiriza! E bibonerezo byaffe ne bibatuukako e kiro, nga beebase oba ne bibatuukako e misana nga bawumuddeko. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 7

فَمَا كَانَ دَعۡوَىٰهُمۡ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَآ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ

5. Ebibonerezo byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okugyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 7

فَلَنَسۡـَٔلَنَّ ٱلَّذِينَ أُرۡسِلَ إِلَيۡهِمۡ وَلَنَسۡـَٔلَنَّ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

6. Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 7

فَلَنَقُصَّنَّ عَلَيۡهِم بِعِلۡمٖۖ وَمَا كُنَّا غَآئِبِينَ

7. Tugenda kubatottolera ddala olw'okumanya (kwaffe), anti tetubulangako (webakolera kintu kyonna). info
التفاسير:

external-link copy
8 : 7

وَٱلۡوَزۡنُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّۚ فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

8. Okupima ku lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna e birizitowa e bipimwa bye, abo nno be bagenda okubalibwa nti batuuse ku buwanguzi. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 7

وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُم بِمَا كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَظۡلِمُونَ

9. Oyo yenna e biriwewuka e bipimwa bye, abo nno beebo abafaafaaganirwa e myooyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku bigambo byaffe. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 7

وَلَقَدۡ مَكَّنَّٰكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلۡنَا لَكُمۡ فِيهَا مَعَٰيِشَۗ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ

10. Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu e bibabeezaawo (wabula) musiima kitono. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 7

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَٰكُمۡ ثُمَّ صَوَّرۡنَٰكُمۡ ثُمَّ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ لَمۡ يَكُن مِّنَ ٱلسَّٰجِدِينَ

11. Era mazima twabatonda mmwe, oluvanyuma twabawa e bifaananyi bya mmwe oluvanyuma ne tugamba ba malayika muvunnamire Adam ne bavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) ataali mu baavunnama. info
التفاسير: