Fassarar Ma'anonin Alqura'ni - Fassara da harshan Lugandiyanci - Gidauniyar Binkasa Africa

Azzukhruf

external-link copy
1 : 43

حمٓ

1. Ha Miim. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 43

وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

2. Ndayidde ekitabo ekinnyonnyofu. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 43

إِنَّا جَعَلۡنَٰهُ قُرۡءَٰنًا عَرَبِيّٗا لَّعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ

3. Mazima ffe twagissa Kur’ani nga eri mu luwarabu oba olyawo ne mutegeera. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 43

وَإِنَّهُۥ فِيٓ أُمِّ ٱلۡكِتَٰبِ لَدَيۡنَا لَعَلِيٌّ حَكِيمٌ

4. Era mazima yo eri ku nsibuko ye bitabo (Lauhul mahfudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 43

أَفَنَضۡرِبُ عَنكُمُ ٱلذِّكۡرَ صَفۡحًا أَن كُنتُمۡ قَوۡمٗا مُّسۡرِفِينَ

5. Abaffe tunabajjirako ddala okubuulirira olwokuba muli abantu abasukka ekikemo (abatagoberera mateeka ga Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
6 : 43

وَكَمۡ أَرۡسَلۡنَا مِن نَّبِيّٖ فِي ٱلۡأَوَّلِينَ

6. Bameka ba Nabbi betwatuma mu baasooka?. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 43

وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن نَّبِيٍّ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

7. Tewali Nabbi yenna yabajjira okugyako bamujeejanga. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 43

فَأَهۡلَكۡنَآ أَشَدَّ مِنۡهُم بَطۡشٗا وَمَضَىٰ مَثَلُ ٱلۡأَوَّلِينَ

8. Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 43

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ خَلَقَهُنَّ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ

9. Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu ne nsi, ddala bajja kugamba nti yabitonda nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 43

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَجَعَلَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ

10. Oyo eyabateerawo ensi nga nyanjuluze nagibateeramu amakubo mulyoke mulungame (mutuuke gye mulaga). info
التفاسير: