Fassarar Ma'anonin Alqura'ni - Fassara da harshan Lugandiyanci - Gidauniyar Binkasa Africa

Fusswilat

external-link copy
1 : 41

حمٓ

1. Ha Miim. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 41

تَنزِيلٞ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

2. (Kur’ani) bubaka obussibwa okuva ewa Katonda omusaasizi ennyo era omusaasizi owenjawulo. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 41

كِتَٰبٞ فُصِّلَتۡ ءَايَٰتُهُۥ قُرۡءَانًا عَرَبِيّٗا لِّقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ

3. (Kyo) kitabo, ebigambo byakyo ebyannyonnyolwa obulungi nga bisomwa, ebiri mu luwarabu (yassibwa) eri abantu abamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 41

بَشِيرٗا وَنَذِيرٗا فَأَعۡرَضَ أَكۡثَرُهُمۡ فَهُمۡ لَا يَسۡمَعُونَ

4. (Yakka nga) ewa amawulire agessanyu eri (abakkiriza) era nga ewa amawulire agatiisa (eri abatakkiriza) naye abasinga obungi mu bo bagyesamba olwo nno bo tebawulira. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 41

وَقَالُواْ قُلُوبُنَا فِيٓ أَكِنَّةٖ مِّمَّا تَدۡعُونَآ إِلَيۡهِ وَفِيٓ ءَاذَانِنَا وَقۡرٞ وَمِنۢ بَيۡنِنَا وَبَيۡنِكَ حِجَابٞ فَٱعۡمَلۡ إِنَّنَا عَٰمِلُونَ

5. Nebagamba nti emitima gyaffe giri mu kibikka, tegiyinza kuwulira ekyo kyotuyitira, ate mu matu gaffe mulimu envumbo ate nga wakati waffe nawe waliwo ekyawula (n'olwekyo tetuyinza kukola bifaanagana) kale kola naffe katukule info
التفاسير:

external-link copy
6 : 41

قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُوحَىٰٓ إِلَيَّ أَنَّمَآ إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَٱسۡتَقِيمُوٓاْ إِلَيۡهِ وَٱسۡتَغۡفِرُوهُۗ وَوَيۡلٞ لِّلۡمُشۡرِكِينَ

6. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima nze ndi muntu nga mmwe, mpeebwa obubaka nti mazima Katonda wa mmwe, Katonda omu yekka, kale mudde gyali mubwesimbu, era mumwegayirire era okubonaabona kuli eri abagatta ebintu ebirala ku Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 41

ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ كَٰفِرُونَ

7. Abo abatatoola Zakka ate nga ddala nabo olunaku lw'enkomererp bo baluwakanya. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 41

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ أَجۡرٌ غَيۡرُ مَمۡنُونٖ

8. Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu balina empeera etaggwawo. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 41

۞ قُلۡ أَئِنَّكُمۡ لَتَكۡفُرُونَ بِٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَرۡضَ فِي يَوۡمَيۡنِ وَتَجۡعَلُونَ لَهُۥٓ أَندَادٗاۚ ذَٰلِكَ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

9. Bagambe nti abaffe mmwe muwakanya oyo eyatonda ensi mu nnaku bbiri nemumuteekako ebisinzibwa ebirala, oyo (gwe mukola ebyo) ye mulezi w'ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 41

وَجَعَلَ فِيهَا رَوَٰسِيَ مِن فَوۡقِهَا وَبَٰرَكَ فِيهَا وَقَدَّرَ فِيهَآ أَقۡوَٰتَهَا فِيٓ أَرۡبَعَةِ أَيَّامٖ سَوَآءٗ لِّلسَّآئِلِينَ

10. Era yassa mu yo (ensi) ensozi nga asinziira ku ngulu kwayo, (olwo nno nezikka wansi) era naagissaamu omukisa era yagererera mu yo ebyokulya byayo (ebiriibwa ebiramu byonna ebigirimu, ebyo byonna yabimalira) mu nnaku nnya, (ekyo kye kyokwanukula) ekituufu eri ababuuza. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 41

ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰٓ إِلَى ٱلسَّمَآءِ وَهِيَ دُخَانٞ فَقَالَ لَهَا وَلِلۡأَرۡضِ ٱئۡتِيَا طَوۡعًا أَوۡ كَرۡهٗا قَالَتَآ أَتَيۡنَا طَآئِعِينَ

11. Oluvanyuma yadda ku kukola eggulu nga nalyo (mu kusooka) lyali mukka, olwo nno naligamba n'ensi, nti mujje okwagala n'obutayagala, byombi nebigamba nti tuzze nga tugonze. info
التفاسير: