Fassarar Ma'anonin Alqura'ni - Fassara da harshan Lugandiyanci - Gidauniyar Binkasa Africa

Lambar shafi:close

external-link copy
11 : 39

قُلۡ إِنِّيٓ أُمِرۡتُ أَنۡ أَعۡبُدَ ٱللَّهَ مُخۡلِصٗا لَّهُ ٱلدِّينَ

11. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze nnalagirwa okusinza Katonda, ng'eddiini ngikola ku lulwe yekka. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 39

وَأُمِرۡتُ لِأَنۡ أَكُونَ أَوَّلَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ

12. Era nnalagirwa mbe nga nze nsoose okuba mwabo abasiramuse. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 39

قُلۡ إِنِّيٓ أَخَافُ إِنۡ عَصَيۡتُ رَبِّي عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ

13. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima nze ntya singa mba njeemedde Mukama omulabirizi wange (okutuukibwako) ebibonerezo by'olunaku oluzibu. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 39

قُلِ ٱللَّهَ أَعۡبُدُ مُخۡلِصٗا لَّهُۥ دِينِي

14. Gamba nti nsinza Katonda, ng'eddiini yange ngikola ku lulwe yekka. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 39

فَٱعۡبُدُواْ مَا شِئۡتُم مِّن دُونِهِۦۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡخَٰسِرِينَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ وَأَهۡلِيهِمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ أَلَا ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡخُسۡرَانُ ٱلۡمُبِينُ

15. Kale mmwe musinze ebyo bye muba mwagadde ebitali yye, era gamba nti mazima abantu ab'okufaafaaganirwa beebo abagenda okufaafaaganirwa emyoyo gyabwe n’abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero, abange okwo nno kwe kufaafaaganirwa okweyolefu. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 39

لَهُم مِّن فَوۡقِهِمۡ ظُلَلٞ مِّنَ ٱلنَّارِ وَمِن تَحۡتِهِمۡ ظُلَلٞۚ ذَٰلِكَ يُخَوِّفُ ٱللَّهُ بِهِۦ عِبَادَهُۥۚ يَٰعِبَادِ فَٱتَّقُونِ

16. Balina waggulu waabwe emizingo gy’omuliro ate nga ne wansi waabwe eriyo emizingo emirala. Ekyo nno Katonda atiisa nakyo abaddube nga abagamba nti: abange baddu bange kale muntye. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 39

وَٱلَّذِينَ ٱجۡتَنَبُواْ ٱلطَّٰغُوتَ أَن يَعۡبُدُوهَا وَأَنَابُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ لَهُمُ ٱلۡبُشۡرَىٰۚ فَبَشِّرۡ عِبَادِ

17. Ate abo abeesamba okusinza ebisinzibwa eby'obulimba nebadda eri Katonda balina amawulire ag'essanyu n'olwekyo sanyusa abaddu bange. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 39

ٱلَّذِينَ يَسۡتَمِعُونَ ٱلۡقَوۡلَ فَيَتَّبِعُونَ أَحۡسَنَهُۥٓۚ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ هَدَىٰهُمُ ٱللَّهُۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمۡ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ

18. Abo abawulira ebigambo nebagoberera ebisinga obulungi mu byo, abo beebo Katonda be yawa obulungamu, era abo bo be ba nannyini magezi amatuufu. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 39

أَفَمَنۡ حَقَّ عَلَيۡهِ كَلِمَةُ ٱلۡعَذَابِ أَفَأَنتَ تُنقِذُ مَن فِي ٱلنَّارِ

19. Abaffe oyo gwekikakaseeko ekigambo ky'ebibonerezo (olw'okwonoonekakwe oyinza okumulungamya!) abaffe ggwe oyinza okutaasa oyo ali mu muliro!. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 39

لَٰكِنِ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ رَبَّهُمۡ لَهُمۡ غُرَفٞ مِّن فَوۡقِهَا غُرَفٞ مَّبۡنِيَّةٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَعۡدَ ٱللَّهِ لَا يُخۡلِفُ ٱللَّهُ ٱلۡمِيعَادَ

20. Naye abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balina e nyumba ezaakalina nga waggulu waazo ate wazimbiddwayo e nyumba endala, ng'emigga gikulukutira mu zo, (eyo) nga ndagaano ya Katonda (ate) nga Katonda tayawukana ku ndagaano. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 39

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَسَلَكَهُۥ يَنَٰبِيعَ فِي ٱلۡأَرۡضِ ثُمَّ يُخۡرِجُ بِهِۦ زَرۡعٗا مُّخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهُۥ ثُمَّ يَهِيجُ فَتَرَىٰهُ مُصۡفَرّٗا ثُمَّ يَجۡعَلُهُۥ حُطَٰمًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ

21. Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi naagakulukusiza mu mifuleggye egiri mu ttaka, oluvanyuma ameza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo, oluvanyuma bikala (ebibadde ebyakiragala) n'obiraba nga bifuuse bya kyenvu, oluvanyuma abifuula ebisubi ebikutusekutuse. Mazima mu ekyo mulimu okujjukiza eri abalina amagezi. info
التفاسير: