Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

Page Number:close

external-link copy
39 : 29

وَقَٰرُونَ وَفِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَۖ وَلَقَدۡ جَآءَهُم مُّوسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا كَانُواْ سَٰبِقِينَ

39 . Era jjukira Karuna ne Firaawo ne Haamaan, mazima Musa yabajjira n'obunnyonnyofu naye ne beekuluntaliza mu nsi era tebaali ba kusimattuka. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 29

فَكُلًّا أَخَذۡنَا بِذَنۢبِهِۦۖ فَمِنۡهُم مَّنۡ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِ حَاصِبٗا وَمِنۡهُم مَّنۡ أَخَذَتۡهُ ٱلصَّيۡحَةُ وَمِنۡهُم مَّنۡ خَسَفۡنَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ وَمِنۡهُم مَّنۡ أَغۡرَقۡنَاۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ

40 . Buli omu twamuvunaana olw'ekibikye, mu bo mulimu betwasindikira empewo eya mayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu betwamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiriza mu mazzi naye Katonda tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 29

مَثَلُ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡلِيَآءَ كَمَثَلِ ٱلۡعَنكَبُوتِ ٱتَّخَذَتۡ بَيۡتٗاۖ وَإِنَّ أَوۡهَنَ ٱلۡبُيُوتِ لَبَيۡتُ ٱلۡعَنكَبُوتِۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ

41 . Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Katonda, balinga nabbubi eyeezimbira e nyumba ate ng'enyumba esinga obunafu y’enyumba ya nabbubi singa baali bamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 29

إِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٖۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

42 . Mazima Katonda amanyi nti bye basaba ne bamulekawo tebiriimu kantu, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 29

وَتِلۡكَ ٱلۡأَمۡثَٰلُ نَضۡرِبُهَا لِلنَّاسِۖ وَمَا يَعۡقِلُهَآ إِلَّا ٱلۡعَٰلِمُونَ

43 . Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okugyako abamanyi. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 29

خَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ

44 . Katonda yatonda eggulu omusanvu, n'ensi mu ngeri entuufu, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 29

ٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَۖ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ تَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۗ وَلَذِكۡرُ ٱللَّهِ أَكۡبَرُۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَصۡنَعُونَ

45 . Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola. info
التفاسير: