Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation

Page Number:close

external-link copy
7 : 29

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَنُكَفِّرَنَّ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَنَجۡزِيَنَّهُمۡ أَحۡسَنَ ٱلَّذِي كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

7 . Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu ddala tugenda kubasangulako ebibi bya bwe, era tujja kubasasulira ddala ebirungi ebisinga bye baali bakola. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 29

وَوَصَّيۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ بِوَٰلِدَيۡهِ حُسۡنٗاۖ وَإِن جَٰهَدَاكَ لِتُشۡرِكَ بِي مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٞ فَلَا تُطِعۡهُمَآۚ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

8 . Era twalaamira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, naye bwe bakuwaliriza obe nga ongattako ekyo kyotalinaako kumanya kwonna tobagonderanga, gyendi y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno mbategeeze ebyo bye mwakolanga. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 29

وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَنُدۡخِلَنَّهُمۡ فِي ٱلصَّٰلِحِينَ

9 . Era abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tujja kubayingiririza ddala mu balongoofu. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 29

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَقُولُ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ فَإِذَآ أُوذِيَ فِي ٱللَّهِ جَعَلَ فِتۡنَةَ ٱلنَّاسِ كَعَذَابِ ٱللَّهِۖ وَلَئِن جَآءَ نَصۡرٞ مِّن رَّبِّكَ لَيَقُولُنَّ إِنَّا كُنَّا مَعَكُمۡۚ أَوَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِأَعۡلَمَ بِمَا فِي صُدُورِ ٱلۡعَٰلَمِينَ

10 . Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Katonda naye bwayisibwa obubi ku lwa Katonda afuula okunyigiriza kwa bantu nga e bibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama omulabiriziwo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Katonda si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde!. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 29

وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ

11 . Katonda ajja kumanyira ddala abo abakkiriza era nga bwajja okumanyira ddala abannanfusi. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 29

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّبِعُواْ سَبِيلَنَا وَلۡنَحۡمِلۡ خَطَٰيَٰكُمۡ وَمَا هُم بِحَٰمِلِينَ مِنۡ خَطَٰيَٰهُم مِّن شَيۡءٍۖ إِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ

12 . Era abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi bya mmwe so nga tebali bo ba kwetikka kintu kyonna mu bibi bya bwe, mazima bbo balimba. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 29

وَلَيَحۡمِلُنَّ أَثۡقَالَهُمۡ وَأَثۡقَالٗا مَّعَ أَثۡقَالِهِمۡۖ وَلَيُسۡـَٔلُنَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَمَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ

13 . Bagenda kwetikka emigugu gyabwe n'emigugu (emirala) awamu n'emigugu gyabwe, era ddala bagenda kubuuzibwa ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye baatemereranga. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 29

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَلَبِثَ فِيهِمۡ أَلۡفَ سَنَةٍ إِلَّا خَمۡسِينَ عَامٗا فَأَخَذَهُمُ ٱلطُّوفَانُ وَهُمۡ ظَٰلِمُونَ

14 . Mazima twatuma Nuuhu eri abantube naamala mu bo emyaka lukumi okugyako emyaka ataano, olwo nno amataba negabakwata nga nabo bali mu kweyisa bubi. info
التفاسير: