Qurani Kərimin mənaca tərcüməsi - Luğanda dilinə tərcümə- Afrika İnkişaf Müəssəsəsi.

Al-Laili

external-link copy
1 : 92

وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰ

1. Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi). info
التفاسير:

external-link copy
2 : 92

وَٱلنَّهَارِ إِذَا تَجَلَّىٰ

2. Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 92

وَمَا خَلَقَ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ

3. Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 92

إِنَّ سَعۡيَكُمۡ لَشَتَّىٰ

4. Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 92

فَأَمَّا مَنۡ أَعۡطَىٰ وَٱتَّقَىٰ

5. N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 92

وَصَدَّقَ بِٱلۡحُسۡنَىٰ

6. Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
7 : 92

فَسَنُيَسِّرُهُۥ لِلۡيُسۡرَىٰ

7. Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 92

وَأَمَّا مَنۢ بَخِلَ وَٱسۡتَغۡنَىٰ

8. Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga). info
التفاسير:

external-link copy
9 : 92

وَكَذَّبَ بِٱلۡحُسۡنَىٰ

9. N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 92

فَسَنُيَسِّرُهُۥ لِلۡعُسۡرَىٰ

10. Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 92

وَمَا يُغۡنِي عَنۡهُ مَالُهُۥٓ إِذَا تَرَدَّىٰٓ

11. N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi) info
التفاسير:

external-link copy
12 : 92

إِنَّ عَلَيۡنَا لَلۡهُدَىٰ

12. Mazima kuli ku ffe okulungamya. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 92

وَإِنَّ لَنَا لَلۡأٓخِرَةَ وَٱلۡأُولَىٰ

13. Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 92

فَأَنذَرۡتُكُمۡ نَارٗا تَلَظَّىٰ

14. Mbeekesa omuliro ogubumbujja. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 92

لَا يَصۡلَىٰهَآ إِلَّا ٱلۡأَشۡقَى

15. Taliguyingira okugyako oyo omwonoonefu ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 92

ٱلَّذِي كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ

16. Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda) n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
17 : 92

وَسَيُجَنَّبُهَا ٱلۡأَتۡقَى

17. So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja kugwesambisibwa. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 92

ٱلَّذِي يُؤۡتِي مَالَهُۥ يَتَزَكَّىٰ

18. Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Katonda (so si bandabe oba okwatiikirira) info
التفاسير:

external-link copy
19 : 92

وَمَا لِأَحَدٍ عِندَهُۥ مِن نِّعۡمَةٖ تُجۡزَىٰٓ

19. Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 92

إِلَّا ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ رَبِّهِ ٱلۡأَعۡلَىٰ

20. Wabula okunoonya okusiimwa ewa mukamaawe owa waggulu ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 92

وَلَسَوۡفَ يَرۡضَىٰ

21. Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa). info
التفاسير: